Joseph Ochaya

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Joseph Benson Ochaya (eyazaalibwa nga 14 Ogwekkumineebiri 1993) munnayuganda omuzannyi w'omupiira gw'ebigere azannyira ttiimu y'e Misiri Al Mokawloon Al Arab ne ttiimu y'eggwanga lya Uganda ng'omuzibizi w'oku ludda olwa kkono.

Ochaya azannye omupiira gwa kiraabu ku Kampala City Council/Kampala Capital City Authority, Navibank Sài Gòn, Asante Kotoko, ne Lusaka Dynamos, TP Mazembe ne Al Mokawloon Al Arab.

Olugendo lwe olw'omupiira[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Kampala, era Ochaya yatandika omupiira gwe ogw'ekikugu mu Kampala City Council.

Mu Gwekkuminoogumu gwa 2012, yava mu Kampala City Council n'agenda mu ttiimu y'e Ghana eyitibwa Asante Kotoko ku nsimbi ezigambibwa okuba $30,000.[1] Yagenda mu kugezesebwa ku ttiimu y'e Bugirimaani eya SpVgg Greuther Fürth mu Gwomunaana gwa 2013. Ye yali omuzannyi wa Uganda Premier League asinga okubalirirwamu ensimbi mu sizoni ya 2015-16 ng'azannyira Kampala Capital City Authority. Okwegatta ku ttiimu ya Bidvest Wits ey'e South Africa mu Gwomunaana 2016 kwagwa butaka.

Mu Gwokusatu 2017, Ochaya yeegatta ku ttiimu y'e Zambia emanyiddwa nga Lusaka Dynamos. Mu Gwekkumi 2018, yassa omukono ku ndagaano ne ttiimu ya TP Mazembe ey'e Congo. Mu Gwomwenda 2022, yeegatta ku ttiimu ya Al Mokawloon Al Arab ey'e Misiri.

Ttiimu y'eggwanga[kyusa | edit source]

Ochaya yayitibwa omulundi gwe ogwasooka ku ttiimu y'eggwanga lya Uganda mu Gwomwenda 2012, n'azannya omupiira gwe ogusooka ng'omwaka ogwo guggwaako. Alzannye mu mipiira gy'okusunsulamu abaneetaba mu mpaka za FIFA World Cup. Yali kitundu ku ttiimu eyeetaba mu mpaka za African Nations Championship eza 2016.

Ebibalo bye eby'omupiira[kyusa | edit source]

Ttiimu y'eggwanga[kyusa | edit source]

Ttiimu y'eggwanga lya Uganda
Omwaka Emipiira Ggoolo
2012 6 0
2013 1 0
2014 3 0
2015 10 0
2016 13 1
2017 7 0
2018 5 1
2019 1 0
Omugatte 46 2

Ggoolo z'ateebye mu matiimu g'ebweru[kyusa | edit source]

Ggoolo z'e Uganda ze zisooka okulagibwa.
No. Ennaku z'omwezi Enfo Omulabe Ebyavaamu Ekivuddemu Empaka
1. 19 Ogwolubereberye 2016 Ekisaawe kya Umuganda, Gisenyi, Rwanda  Mali 1-0 2-2 African Nations Championship eza 2016
2. 24 Ogwokusatu 2018 Ekisaawe kya Mandela National Stadium, Kampala, Uganda  São Tomé and Príncipe 1-0 3-1 Gwa mukwano

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named URN

Template:Uganda squad 2017 Africa Cup of NationsTemplate:Uganda squad 2017 Africa Cup of Nations