Kadongo Kamu
Kadongo Kamu tuluba lya nnyimba enzariranwa muUganda. Kino kyekimu ku bika by'enyimba ebisinga obukadde mu ggwanga Uganda era nga erinya lyakyo likijja mu bigambo bibiri eby'olulimi oluganda. Ekigambo "kadongo" oba akadongo ekiva mu ndongo omuzungu gyatera okuyita 'guitar' ne "kamu" nga kino kiva mu kubala ennamba emu olwokuba abakubi bennyimba ezigwa mu kikula kino bayimbiiranga ku ndongo emu ewatali kuwerekerwa bivuga birala nga bweguli mu bika by'ennyimba ebirala.[1] Erinnya lino lyongera okwoleka ensibuko, n'enkula ya kadongo kamu bweyali yakatandika okuyimbibwa anti abayimbi bayimbiranga ku kadongo kamu ak'enkoba zebasunaanga nga eno bwebaziwereekereza amaloboozi ag'enjawulo agasitudde obubaka. [2]
Ekikula n'enzimba ya Kadongo kamu
[kyusa | edit source]Okutegeera lwaki abayimbi ba kadongo kamu basalawo nnyo okukozesa endongo 'guitar' mu kuyimba omuntu asaanye okumanya ebikwata ku kikula ky'ennyimba ennansi mu ggwanga Buganda kuba mu nnyimba zino mwemuva ettuluba lino erya kadongo kamu. Abaganda nga abantu bayina ebivuga ebyenjawulo omuli engoma, amadinda, amakoondeere, entongooli, amadinda nebirala era mu bivuga bino bajjamu ebika byamaloboozi ebitera okuwerekerwa amazina ag'ekinnansi nga 'Bakisimba', 'amaggunju' namalala. Nabwekityo nno mu kugunja ekika kyennyimba kino ekyajja okufuuka kadongo kamu, abayiiya bayagala okukola ennyimba eziyina omudigido ogwefaanaanyiriza ezo ez'enonno wabula nga tekibetaagisa kutambula nabivuga binji (tebayagala bivuga binji kuba batambula nga nnyo nga bayimba mu bitundu ebyenjawulo) era bwetyo guitar nefuuka nganzi nnyo olw'obusobozi bwokuvaamu amaloboozi ag'enjawulo wamu n'emidigido eminyuvu. [3]
Ebyafaayo
[kyusa | edit source]Kadongo kamu yatandika okumanyika awamu n'okufuna obuganzi mu Uganda mu myaka gya 1950 yadde nga ssi y'entadikwa ye entongole.[4] [5] Bannabyafaayo banji bakikaatiriza nti oluyimba lwa kadongo kamu olwasooka okukwatibwa ku lutambi luyitibwa 'Nabutono' era nga eyaluuyiiya n'okuluyimba ye Elly Wamala omu ku bayimbi ba Uganda abasooka okukwata ennyimba ku ntambi zamaloboozi. Yadde nga Wamala atwalibwa nga omutandisi wa kadongo kamu oluvannyuma yayamwabulira olw'obutakkaanya n'abayimbi banne abalala engeri gyebali bakuttemu ensonga z'okuyimba ye gyeyalaba nga ey'okwejajaamya.Kyokka yadde Wamala yayabulira Kadongo kamu abayimbi abalala beyali atandise nabo oba abo abasikirizibwa ennyimba ye bagenda mu maaso n'okuyimba kadongo kamu era nebafuna etuttumu eryamaanyi n'obuganzi. Kubano kwaliko Christopher Ssebadduka, Eclaus Kawalya, Peter Baligidde, Dan Mugula, Fred Ssebata, Fred Masagazi, Livingstone Kasozi, Paul Kafeero, Herman Basudde n'abalala[6]
Oluvannyuma lwokututumuka mu myaka 1950 ne 1960 ate kadongo kamu yasanga okusoomozebwa mu myaka gya 1970 okutuukiira ddala ku nkomerero y'emyaka gya 1980. Kino kyava ku kuba nti Uganda nga eggwanga mu biseera ebyo lyali litabanguddwa era nga lirimu obusambattuko bw'ebyobufuzi bunji omwali okulumbibwa kw'olubiri lwa SSekabaka Muteesa II mu mwaka 1966, okuwambibwa kwa gavumenti ya Milton Obote mu 1971 ekyaleeta obufuzi bwa bwa mukwata mundu Idi Amin, entalo z'ekiyeekera mu myaka gya kinaana ezawakulwa abantu nga Yoweri Museveni oluvanyuma eyafuuka omukulembeze weggwanga n'ebirala. Ekyaleetera kadongo kamu okusoomozebwa mu biseera ebyo kwekuba nga abayimbi ba kadongo kamu nga Dan Mugula, Christopher Ssebadduka, Fred Ssebadduka nabalala benyigira butereevu mu by'obufuzi bwebayimba ennyimba ezivumirira effuga bbi n'obwannakyemalira mu ggwanga Uganda ekyabaviirako okuyigannyizibwa zi Gavumenti ez'enjawulo. Ennyimba za Kadongo kamu ezetoobekamu eby'obufuzi ebinji mulimu Kampala mu kooti olwa Paul Kafeero, Agawalagana mu nkoola olwa Baligidde, Engo y'ekiggwa olwa Fred Ssebatta, Baalaba taliiwo olwa Dan Mugula, Bakoowu olwa Mathias Walukagga n'endala[7]
OKUSOOMOZEBWA
Yadde nga kadongo kamu kyekimu ku biva by'enyimba ebizaaliranwa wano mu Uganda mu kiseera kino kyesanze mu kusoomozebwa okwamanyi era n'obuganzi bwakyo bukendedde nnyo bwogeraageeranya nebwegwali mu ntandikwa era wammanga z'ezimu ku nsonga lwaki;
- Enkyukakyuuka mu mbeera zabantu.
Bw'otunuulira ebibalo ebyava mu kubala kwabantu mu Uganga okwakolebwa ekitongole kya Gavumenti ya Uganda ki UBOS mu mwaka 2024 biraga nti banna Uganda ebitundu 50.5% bali wansi w'emyaka 17 sso nga abalala 22.7% bali wakati w'emyaka 18-30. Kuno kusoomozebwa eri kadongo kamu kubanga mu nnono ye ennyimba zitera kufulumizibwa nga zeetisse bubaka n'amakulu ag'ebuziba kyokka nga banna Uganda banji kati banyumirwa ndongo ya mudigido.[10]
- Enkyukakyuuka mu tekinologiya
Kadongo kamu mu ntandikwa yayimirirangawo ku ndongo kyoka mu budde buno tekinologiya akyuuse ennyo ekiwaliriza oba okusikiriza abayimbi ba kadongo kamu 'okugenda n'omulembe' mu dda ate nebamaliriza nga bafananye nabayimbi ab'ebika ebirala era nebatayawulwa. Ekyokulabirako ye muyimbi Fred Ssebbale eyagenda mu maaso n'okuddamu ennyimba ze enkadde okuziteekaamu engoma ekyazifuula okufaanana nga ezitali za Kadongo Kamu.[11]
- Abayimbi abagundiivu nga Paul Kafeero, Herman Basudde, Libingstone Kasozi, okufa amangu nga tebategesse basika.
- Kadongo kamu azannyibwa bbalirirwe ku mikutu gyamawulire nga n'egimu gimuwa nnaku nga ssande okumuzannya mu puloogulaamu ez'essawa embale.
- ↑ https://books.google.co.ug/books?id=jlko7YMatxIC&dq=music+%22uganda%22&pg=PA134&redir_esc=y#v=onepage&q=music%20%22uganda%22&f=false
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/entertainment/why-musician-wamala-founded-kadongo-kamu-later-deserted-it-4491374
- ↑ file:///C:/Users/user/Downloads/Why%20musician%20Wamala%20founded%20Kadongo%20Kamu,%20later%20deserted%20it%20%20Monitor.pdf
- ↑ https://www.chosic.com/genre-chart/kadongo-kamu/
- ↑ https://blogs.voanews.com/music-time-in-africa/2008/02/05/kadongo-kamu-from-uganda/#:~:text=Kadongo%20Kamu%2C%20or%20'one%20guitar,back%20to%20the%20early%201950s.
- ↑ file:///C:/Users/user/Downloads/Why%20musician%20Wamala%20founded%20Kadongo%20Kamu,%20later%20deserted%20it%20%20Monitor.pdf
- ↑ https://www.cambridge.org/core/journals/popular-music/article/language-ideology-and-kadongo-kamu-flow/A78ED1875595CE095EA93DF54A5D94AF
- ↑ https://africasacountry.com/2019/10/the-resistance-music-of-the-ugandan-people
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/kafeero-s-kampala-mu-kooti-relevant-now-more-than-ever-4444732
- ↑ https://uganda.unfpa.org/en/news/census-2024-preliminary-results-released-uganda-remains-young-population
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1139386/kadongo-kamu-changing-modern-society