Jump to content

Moses Aliro

Bisangiddwa ku Wikipedia

Moses Aliro (yazaalibwa 9 Ogwokubiri 1996) Oluusi ayitibwa Moses Okabo Aliro muzannyi wa mupiira munna Uganda azannyira kiraabu eya Uganda Revenue Authority kwossa ne ttiimu y'eggwanga Uganda ey'omupiira . [1]

Obuto n’emisomo

[kyusa | edit source]

Aliro yazaalibwa mu disitulikiti y’e Dokolo, mu Bukiikakkono (mambuka) bwa Uganda. Emisomo gya siniya yajisomera ku ssomero lya Kibuli SS [2] oluvannyuma gyeyava okwegatta ku Bugema University okusoma diguli by’okugula n'okutambuza ebintu mu lungereza eyitibwa Bachelors of procurement and supply chain managment. [3] [4]

Okuzannya omupiira

[kyusa | edit source]

Aliro omupiira yagutandikira ku tiimu yabato eya kiraabu ya KCCA era nga eno yaliyo okuva mu mwaka 2016 okutuuka mu 2017. Oluvannyuma yeegatta ku Destiny academy nga eno gyeyava okwegatta ku Doves All Stars FC mu kibuga Arua nga tannaba kuweebwa ndagano ku kiraabu enkulu eya KCCA FC . Nga akyali mu ssomero yazannyirako Kibuli secondary school mu mpaka zamasomero eza Copa Coca Cola League era mu mpaka ez'omwaka 2017 Aliro yateeba ggoolo 12 ekyamufuula omuzannyi eyasinga bane okuteeba ku mulundi ogwo.

KCCA FC

[kyusa | edit source]

Aliro yatandika okuzannya mu liigi ya Uganda ey'okuntikko mu mwaka 2020 ng’omuzibizi oluvannyuma lw’okussa omukono ku ndagaano ya myaka etaano. Mu sizoni ya 2020/2021 Yazannyira KCCA FC emipiira 23 nateeba ggoolo 1. [5]

Wakiso Giants

[kyusa | edit source]

Mu 2021, Aliro yeegatta ku kiraabu ya Wakiso Giants ng’omuzibizi era nazannya emipiira 48 n’ateeba omugatte gwa ggoolo 12. Mu mwaka 2023 yegatta ku URA SC oluvannyuma lwendagaano ye ne Wakiso Giants okuggwako. [6]

Uganda Revenue Authority SC

[kyusa | edit source]

Mu Gwomusanvu 2023, Uganda Revenue Authority SC yawa Aliro endagaano ya myaka ebiri okubazannyira nga omuzibizi ku ludda olwa ddyo. [7] Mu budde bwebumu URA era yali efunye ba musaayi muto okuli Kisiriko Denis Luzige, John Innocent Kisolo, Amis Bwangani ne Godfrey Sekibengo. Aliro yakazannyira URA emipiira 29 n’ateeba ggoolo 5.

Uganda Cranes

[kyusa | edit source]

Aliro yeegatta ku ttiimu ya Uganda enkulu mu mwaka 2023 era omupiira gwe ogwasooka yaguzannya nga 18 January 2023. Yali mu ttiimu ya Uganda cranes eyeetabye mu mpaka zabazannyi abazannyira mu liigi zawaka ku lukalu lwa Afirika eza CHAN ez'omwaka 2023 mu ggwanga lya Algeria. [5]

Engule

[kyusa | edit source]
  1. omuzannyi w'omwezi gwa January, 2022 Fortebet Real Star Wards

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | edit source]
  1. https://urafc.co.ug/aliro-moses-completes-move-to-ura-fc/
  2. https://www.newvision.co.ug/news/1453298/kibuli-ss-ready-defend-title-coach-male
  3. https://www.newvision.co.ug/news/1513892/kcca-fc-sign-aliro-contract
  4. https://www.newvision.co.ug/category/sports/versatile-aliro-joins-ura-fc-NV_165522
  5. 5.0 5.1 https://www.besoccer.com/player/career-path/m-aliro-916113
  6. https://www.newvision.co.ug/category/sports/real-stars-awards-an-inspiration-for-aliro-an-NV_125927
  7. https://urafc.co.ug/aliro-moses-completes-move-to-ura-fc/