Jump to content

Murushid Juuko

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Murushid Juuko

Olugendo lw'omupiira

[kyusa | edit source]

Juuko yazaalibwa Entebbe, mu disitulikiti y'e Wakiso. Azannyidde ttiimu z'e Uganda, Bunamwaya ne SC Victoria University nga tannagenda Tanzania okuzannyiraa Simba.

Juuko yeegatta ku Express FC mu 2020 ku ndagaano ya mwaka gumu.

Ttiimu y'eggwanga

[kyusa | edit source]

Juuko yazannya omupiira gwe ogusooka ku ttiimu ya Uganda ey'eggwanga (eyitibwa "Cranes") nga 11 Ogwomusanvu 2014 nga battunka ne ttiimu y-eggwanga lya Seychelles. Ttiimu y'eggwanga lya Uganda yawangula ku ggoolo 1-0.

AFCON 2017

[kyusa | edit source]

Juuko yakulembera Cranes okutuuka ku mpaka ez'akamalirizo ez'ekikopo kya Afirika omulundi gwayo ogusooka okuva mu mwaka gwa 1978. Yali mu ttiimu eyawangula Comoros ku ggoolo 1-0 okukiika mu mpaka ez'akamalirizo eza 2017 mu Gabon. Oluvannyuma lw'okusubwa omupiira ogwasooka nga bazannya ne Ghana olw'ekibonerezo kye yafuna mu mpaka z'okusunsulamu, yazannya eddakiika 180 nga battunka ne Misiri kw'ossa Mali.

AFCON 2019

[kyusa | edit source]

Mu mpaka z'ekikopo kya Africa eza 2019 Juuko yazannya emipiira ebiri, ogwasooka nga bazannya ne DR Congo ate omulala nga bazannya ne Senegal oluvannyuma lw'okufuna obuvune ku kisambi. Uganda Cranes empaka yaviiramu ku luzannya lwa 16 abasembayo.

Ebibalo bye eby'omupiira

[kyusa | edit source]

Ttiimu y'eggwanga

[kyusa | edit source]
Ttiimu y'eggwanga Omwaka Emipiira Ggoolo
Uganda 2014 1 0
2015 8 0
2016 9 0
2017 7 0
2018 6 1
2019 6 0
2021 2 0
Omugatte 39 1

Ggoolo ku ttiimu z'ebweru

[kyusa | edit source]
Ggoolo za Uganda ze zisooka.
No. OEnnaku z'omwezi Enfo Omulabe Ebyavaamu Ekivuddemu Empaka
1. 24 Ogwokusatu 2018 Ekisaawe kya Mandela National Stadium, Bweyogerere, Uganda  São Tomé and Príncipe Mu ngeri y'emu n'eyitibwa 31 Mu ngeri y'emu Gwa mukwano

Ebikopo

[kyusa | edit source]

Vipers

  • Uganda Premier League: 2010

SC Victoria University

  • CECAFA Nile Basin Cup: 2014
  • Uganda Cup: 201314

Simba

  • Tanzania Premier League: 2017-1918
  • Kombe la Shirikisho la Azam (Azam Sports Federation Cup): 2017
  • Kombe La Mapinduzi: 2015
  • SportPesa Super Cup: 2017, 2018

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]

Obulandira obulala

[kyusa | edit source]
  • Murushid Juuko ku Soccerway
  • Murushid Juuko kuFootballDatabase.eu

Template:Uganda squad 2017 Africa Cup of NationsTemplate:Uganda squad 2017 Africa Cup of NationsTemplate:Uganda squad 2019 Africa Cup of NationsTemplate:Uganda squad 2019 Africa Cup of Nations