Nakasero Market
Akatale ka Nakasero oba Nakasero Market kamu ku butale mu Kampala, Uganda, akasangibwa wansi w’olusozi Nakasero. Mu katale kano mutundibwamu emmere ensu nga yakava mu nnimiro, engoye, engatto, ebyuma eby’amasannyalaze n'ebirala. [1] Akatale ka Nakasero kasangibwa mita 50 okuva ku luguudo Entebbe Road mu kibuga kampala wakati. kano era kekamu ku butale obusinga obunene mu kibuga Kampala.[2]
Ebyafaayo
[kyusa | edit source]Akatale ka Nakasero kaatandika mu mwaka 1895 nga kasooka kubeera mu Lubiri . Oluvannyuma mu 1905, Akatale kano kaasengulwa n'ekajjibwa mu lubiri nekatwaliibwa mu kitundu ekiyitibwa Kagugube okumpi ne Makerere era wano nga kaali mu kyangaala kuba ekifo ekyo tekyali kizimbe[3] Oluvannyuma akatale kajjibwa e Kagugube mu mwaka 1927 nekateekebwa wakati mu kibuga Kampala wekali ne leero era ke katale akasinga obukadde mu kibuga Kampala. [4] Mu katale ka Nakasero mukolerwamu abantu abasoba mu 10,000 abakola emirimu egyenjawulo omuli obusuubuzi bwebyamaguzi, abatessi b'emigugu, abasabaaza abantu, abawooza b'omusolo nabalala era nga bano ba mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo kwossa naabo abava mu mawanga g'obuvanjuba bwa Afirika .[4] [5]
Enzimba
[kyusa | edit source]Akatale ka Nakasero kaawuddwamu ebitundu bibiri;waliwo ekitundu ekitali kizimbe era nga wano abasuubuzi batuula mu bu manvuli nebanjala ebyamaguzi byabwe nga ebiseera ebisinga biba birime nga enyanya, obutunda entula, nebirala. Mu kitundu ekirala ekyakatale kano abasuubuzi bakolera mu kizimbe ekikadde era nga bano abasinga batunda bintu byeyambisibwa mu kuzimba, engoye, ebintu ebyettanirwa abalambuzi nebirala ebiringa ebyo. [6]
Obwannannyini
[kyusa | edit source]Akatale ka Nakasero kaddukanyizibwa kampuni eyitibwa Nakasero Market Vendors and Traders Association, Ltd.[7]
Ebyamaguzi ebitundibwa mu katale e Nakasero
[kyusa | edit source]- Ebibala
- Enva endirwa
- Ennyama
- Ebinyonyi
- Eby’okwambala
- Ebyamasanyalaze
- Matooke
- Amaji
- Emmwanyi
- Ebirungo ebikozesebwa mu kufumba
Ebiwandiiko ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ Uganda Travel Guide
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-09-18. Retrieved 2024-09-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.livinginkampala.com/area-guides/living-in-nakasero/
- ↑ 4.0 4.1 https://www.researchgate.net/publication/291531381
- ↑ (86–94).
{{cite journal}}
: Cite journal requires|journal=
(help); Missing or empty|title=
(help) - ↑ http://fortuneofafrica.com/ug/nakasero-market/
- ↑ https://diiuganda.org/nakasero-market/