Noeline Kisembo Basemera

Bisangiddwa ku Wikipedia

Noelina Kisembo Basemera (yazaalibwa 27 December 1973) munnabyabufuzi, mubaka wa palamenti era addukanya emirimu.

Ebyafaayo[kyusa | edit source]

Noelina Kisembo Basemera yazaalibwa nga 27 December 1973. Munnabyabufuzi mu Uganda, mubaka wa palamenti era nga ye muddukanya w'emirimu. Ye mubaka omukyala mu Disitulikiti y'e Kibaale era mmemba w'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), ekibiina ekiri mu bukulembeze bw'ebyobufuzi mu Uganda nga kikubirizibwa Yoweri Kaguta Museveni pulezidenti wa Uganda.

Okusoma[kyusa | edit source]

Kisembo pulayimale yagitandikira mu muhorro primary school Kibale n'amaliriza ebigezo bye eby'okuva mu pulayimale mu 1987, yeewandiisa mu Naigana secondary school okusoma O'level era n'amaliriza Uganda Certificate of Education (UCE) mu 1991, oluvanyuma ne yeegatta ku st Andrea Kaahwas college hoima olw'obuyigirize bwe obwa A'level gye yamalira ebbaluwa ye eya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) mu 1994. Oluvannyuma yeegatta ku yunivasite y’e Makerere n’afuna diguli esooka mu mbeera z'abantu mu 1998 n’oluvannyuma n’agattako diguli ey'okubiri mu by’enkulaakulana mu 2008

Emirimu[kyusa | edit source]

Kisembo abadde mubaka Omukyala owa Palamenti owe Kibale okuva mu 2016 n’okutuusa kati.

Yakolagana ne Uganda Kolping society ng'omumyuka wa dayirekita okuva mu 2003 okutuuka mu 2016, omukwanaganya w'eby'enjigiriza okuva mu 1999 okutuuka mu 2003 n'omuyambi w'omukwanaganya w'eby'enjigiriza okuva mu 1996 okutuuka mu 1999.

Mu palamenti aweereza ku kakiiko akakola ku nsonga z’abantu b’omu buvanjuba bwa Afrika. Ono era mmemba mu kibiina ekigatta ababaka ba Palamenti abakyala ekya Uganda Woman Parliamentary Association (UWOPA).

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]