Rachael Magoola

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Rachael Magoola Muyimbi Munna Ugandan,[1] omuwandisi w'enyimba, omuzinyi,[2] era munabyabufuzi. Ali kitundu ku kibiina kya Afrigo Band.[3][4][5][6] Mukulonda kwa bonna okwa 2021 yalondebwa okukikkirira abakyala mu Disitulikiti ya Bugweri mu Paalamenti ku tikiti ya National Resistance Movement.[7]

Obuto bwe n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Olugendo lwa Magoola olw'okuyimba yalutandikira waka kuba taata we, omugenzi Nicholas Magoola, yali musomesa w'ebyokuyimba mu masomero mangi ebuvanjuba bwa Uganda. Nga omuwala omuto, yayimbira mu kkwaya y'ekanisa era yakubanga n'ebivuga ewaka. Mu siniya eyokubiri, yagobebwa ku Tororo Girls School olw'okwenyigira mu mirimu gya bbandi nga ali muluwumula lwe somero. Mu 1983 Magoola yegatta ku Namasagali College noluvanyuma ku "Kaliro Teacher Training College" gyeyatendekebwa nga omusomesa wa siniya, omukugu mubyokuyimba n'ennimi. Yasomesa e Namasagali College okutuusa 1993 weyegattira ku Kyambogo University gyeyafunira diguli esooka mu Busomesa, ng'eno yakuguka nnyo mu by'okuyimba. Newankubadde yemuyizi eyasinga mu kibiina kyabwe, Magoola teyatikirwa kubanga yasabibwa obutagenda mu maaso n'okusoma oluvanyuma lw'okuduka ku yunivaasite okwegata mu kulambula ne Afrigo Band. Yalikodinga Obangaina e London wamu ne Afrigo Band oluyimba olwafuukirawo olw'amanyi. Magoola yadayo e Kyambogo University mu 2012 okumaliriza era n'okufuna diguli ye mu Busomesa.[8]

Okuyimba kwe[kyusa | edit source]

Magoola yegatta ku Afrigo gyeyayiyiza enyimba nyingi n'okukuguka mubyokuzina. Mu 2001 Rachel yatandika era natongoza ekibiina ekikye mweyalikodingira alubaamu ssatu: Inhaife, Tyenda Wundi ne Tonyiiga. Mu 2003, yava mu Afrigo band ne mu Uganda, Naagenda mu United Kingdom. E London's South Bank yakulemberamu ekibiina kya 'Women of Kampala' mu Kivulu Kya Afirika Eky'okuyimba e London naakolagana ne South African trumpeter Claude Deppa. Mu 2009 Rachel wamu n'ekibiina kye baayimba mukivulu kya Sauti za Busara e Zanzibar. Enyimba ze zirimu ebirungo by'ennimi nebisoko okuva mu mawanga gona mu Uganda, era ne reggae ne zouk.[9][10] Magoola alina alubaamu mukaaga: Inhaife (1997), Tyenda Wundi (1998), Tonyiiga (2000), Atubembe (2001), Songs from the Source of the Nile (2005) and Eisadha (2008).[11]

Alubaamu ze[kyusa | edit source]

  • Inhaife (1997)
  • Tyenda Wundi (1998)
  • Tonyiiga (2000)
  • Atubembe (2001)
  • Songs from the Source of the Nile (2005)
  • Eisadha (2008)

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. "Archive copy". Archived from the original on 2014-02-28. Retrieved 2024-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2024-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. http://allafrica.com/stories/201307100208.html
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2016-11-10. Retrieved 2024-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://www.theeastafrican.co.ke/magazine/Kampala+most+resilient+band+Afrigo+plays+on/-/434746/1990058/-/ptxvk0/-/index.html
  6. http://www.eastafricanmusic.com/rachel_magoola.htm
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2021-02-20. Retrieved 2024-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Catching-up-with-Rachael-Magoola/-/689842/1974036/-/mmlk4p/-/index.html
  9. http://www.africanmusiciansprofiles.com/RachelMagoola.htm
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2024-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2015-03-22. Retrieved 2024-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Lua error: Invalid configuration file.