Jump to content

Sam Kavuma

Bisangiddwa ku Wikipedia

Lieutenant General Samuel Kavuma amanyiddwa ennyo nga Sam Kavuma mukulu mu magye ga Uganda . Okuva mu Ogwokussatu 2024, abadde aweereza ng’omuduumizi w’ekitongole kya African Union Transition Mission mu Somalia (ATMIS). [1] Ekyo nga tekinnatuukawo, okuva nga 24 Ogwomukaaga 2021 okutuuka nga 24 Ogwoussatu 2024, yaliko omumyuka w’omukwanaganya w’ekitongole kya Operation Wealth Creation, ekyalondebwa Pulezidenti Yoweri Museveni [2] [3] Amangu ddala ng’ekifo ekyo tekinnatuuka, yaweereza ng’omumyuka w’omuduumizi w’eggye lya Uganda People’s Defense akabinja k'amagye g’omu bbanga. Ekyo nga tekinnatuuka, Kavuma yaliko Omuduumizi w’eggye lya Uganda People’s Defence Force Contingent mu Somalia, ng’omu ku kaweefube w’omukago gwa African Union Mission to Somalia (AMISOM). Yalondebwa ku kifo ekyo mu Ogwekkumi 2014. Yadda mu bigere bya Brigadier General Dick Olum, eyaweereza mu kifo ekyo okuva mu September 2013 okutuuka mu October 2014. [4]

Ensibuko n’obuyigirize

[kyusa | edit source]

Sam Kavuma yazaalibwa mu Masekati ga Uganda, nga mu mwaka gwa 1960. Yatendekebwa mu by’amagye okuva mu ttendekero ly’ebyokwerinda mu ggwanga erya Kenya, wakati wogwomunaana 2012 okutuuka mu Ogwomukaaga 2013. [5]

Omulimu gw’amagye

[kyusa | edit source]

Mu 2011, ku ddaala lya colonel, Sam Kavuma yali muddumisi w’eggye lya Uganda People’s Defence Force ekibinja ekyokutaano, erisangibwa mu Pader, Northern Uganda . Nga 18 Ogwomwenda 2011, yakuzibwa n’atuuka ku ddaala lya brigadier . Mu Gwomukaaga 2013, nga yaakatikkirwa mu ttendekero ly'ebyokwerinda mu ggwanga, lye'Kenya, Brigadier Kavuma yalondebwa nga "Omuduumizi w'ekibinja ekikola ku nsonga z'ekibinja ekirwanyisa LRA mu South Sudan ne Central African Republic (CAR)", n'adda mu bigere bya Bigadier Dick Olum . [6] [7] [8] Mu gwekkumi 2014, Yoweri Museveni, omuduumizi w’eggye lya Uganda People’s Defence Force, yalonda Brigadier Sam Kavuma, ng’omuduumizi owokuntikko w’ekibinja kyabwe okutwalira awamu mu kitongole kya African Union Mission e Somalia. [9] [10]

Ebirala by’olina okulowoozaako

[kyusa | edit source]

Ku ddaala lya Major General, Samuel Kavuma yaliko Ssentebe wa Wazalendo Savings and Credit Cooperative Society, ekibiina ekitereka n’okuwola ssente ekya bannamagye ba Uganda. [11]

Laba nabinno

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. https://www.independent.co.ug/kavuma-promoted-sent-from-owc-to-somalia/
  2. https://nilepost.co.ug/2021/06/24/lt-gen-mbadi-appointed-new-cdf-elwelu-deputy/
  3. http://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-creates-new-deputy-commander-Land-Forces-position-/688334-4211916-a1t7bfz/index.html
  4. http://www.newvision.co.ug/news/647647-brig-dick-olum-new-updf-boss-in-somalia.html
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2017-12-05. Retrieved 2024-09-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. http://www.newvision.co.ug/news/644553-somalia-lra-operation-commanders-changed.html
  7. http://www.newstatesman.com/world-affairs/2014/10/africa-s-forgotten-scourge-joseph-kony-and-lord-s-resistance-army
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-03. Retrieved 2024-09-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. https://web.archive.org/web/20141028183948/http://www.bukedde.co.ug/news/81178-Uganda-eyongedde-abajaasi-2-754-mu-ddwaaniro-e-Somalia.html
  10. https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor
  11. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1466743/kavuma-promoted-major