Sheila Mwine Kabaije
Sheila Mwine Kabaije yazaalibwa nga 26 Ogwokubiri 1968, [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda munayuganda Omusomesa era munnamateeka aweereza nga Omubaka omukyala ow'ekitundu ekye Kiruhura disitulikiti] mu Palamenti y'e Uganda ey'ekkumi (2016 okutuuka mu 2021). Ye memba w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement.
Ebyafaayo n'okusoma
[kyusa | edit source]Sheila Mwine yasomera ku Buganda Road Primary School, mu kibuga Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Mu 1982 yayingizibwa mu ssomero lya Gayaza High School, essomero ly'abawala ery'ekitiibwa mu disitulikiti y'e Wakiso. Yasomera eyo mu O-Level ne A-Level, n'amaliriza mu 1988 ng'alina dipulooma mu High School.
Yegatta ku eyali Institute of Teacher Education, Kyambogo, nga okuva mu 2021 yafuulibwa kitundu ku Kyambogo University, n'attikirwa dipulooma mu Secondary Education mu 1990. Yeyongera mu maaso n'emisomo gye mu Yunivasite ya Makerere, yunivasite y'eggwanga esinga obunene mu Uganda, n'attikirwa diguli esooka mu busomesa mu 1996. Diguli ey'okubiri mu . Education Organisation, Planning and Management, yamuweebwa University of Reading mu 2005.
Omulimu gwe ng'omusomesa
[kyusa | edit source]Sheila Mwine yatandika obusomesa mu Kinoni Girls School, mu kibuga Mbarara wakati wa 1991 ne 1994. Oluvannyuma yakyuusibwa n'aweerezebwa mu ssomero erya Bishop Kivengere Girls School, Muyebe ng'Omumyuuka w'omukulu w'essomero wakati wa 1997 ne 2001 ate gyeyamala n'afuulibwa omukulu wa ssomero eryo wakati wa 2001 ne 2007. Oluvannyuma yaweereza ng'akulira ebyenjigiriza mu gavumenti ez'ebitundu mu disitulikiti eya Kiruhura okuva mu 2007 okutuuka mu 2015.
Omulimu gwe nga munnabyabufuzi
[kyusa | edit source]Yafuna obuwanguzi mu kuvuganya kw'ekifo ky'abakyala mu disitulikiti y'e Kiruhura, mu kiseera ky'okulonda okwa 2016. Mu palamenti ya Uganda ey'omulundi ogw'ekkumi, ali ku kakiiko k'ebyenjigiriza n'ebyemizannyo wamu n'akakiiko k'eby'obufuzi, ab'obuyinza n'amakolero g'eggwanga.