Simon Mugenyi Byabakama
Simon Mugenyi Byabakama munnamateeka era omulamuzi mu Uganda, ku kkooti ya Uganda ejulirwamu, era ekolanga e kkooti ya Ssemateeka .[1][2] Yalondebwa mu kkooti ejulirwamu nga 11 Ogw'ekkumi 2015. [3]
Nga 18 Ogw'ekkumin'ebiri 2016, omulamuzi Simon Byabakama yalondebwa ku bwa Ssentebe w’akakiiko ak’ebyokulonda aka Uganda, ng’adda mu bigere bya Yinginiya Badru Kiggundu, eyaweereza okumala emyaaka 14 ng'ebisanja bye ebibiri byali biweddeko.[4][5]
Ebyafaayo n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Hoima, nga 31 Ogusooka 1957. [6] Pulayimale yagisomera mu masomero ag'omu kitundu. Yasomera mu Kabalega Secondary School, e Masindi emisomo gye egya Siniya esooka, n'atikkirwa mu 1974. Yagenda mu maaso n'okusoma kwe okwa Advanced Level e Kabalega, n'atikkirwa mu 1976. [6]
Yasoma amateeka mu yunivasite y’e Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obunene era esinga obukadde mu Uganda, n’atikkirwa mu 1980 n’afuna diguli esooka mu mateeka (LLB). Oluvannyuma mu mwaka gwe gumu, yafuna Dipuloma mu by’amateeka, okuva mu Law Development Center, mu Kampala, ekibuga ekikulu eky’eggwanga. Olwo n’aweebwa ekifo mu bwanamateeka. [6]
Obumanyirivu mu mirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Omulimu gwe yasooka okukola gwali gwa Resident State Attorney mu Disitulikiti y’e Masindi, n’akolerayo okutuusa mu 1987. Oluvannyuma yasitulwa n’afuulibwa senior state attorney mu Directorate of Public Prosecution, mu minisitule ya Uganda ey’ebyamateeka ne Ssemateeka . Mu 1992, yafuuka Ssabawolereza wa gavumenti omukulu. Mu 1996, yakuzibwa n’afuulibwa Ssabawolereza wa gavumenti era n’alondebwa okuba omumyuka wa Dayirekita w’abawaabi ba gavumenti, eddaala lye mu kiseera we yeegatta ku kkooti eno mu Ogw'ikutaano 2008. [6]
Omulimu gw’ekitongole ekiramuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Yalondebwa ng’omulamuzi wa kkooti enkulu mu Uganda muOgw'okutaano 2008, n’aweereza ng’omulamuzi wa kkooti enkulu e Lira (2008–2010), e Soroti (2010–2013), ne mu Masindi (2013–2015). Mu Ogw'ekkumi wa 2015, omulamuzi Byabakama y’omu ku Balamuzi ba Kkooti Enkulu omukaaga abaalondebwa mu kkooti ejulirwamu .[6][7]
Mu kakiiko k'eby'okulonda mu Uganda
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Ogwekkumin'ogumu wa 2016, omulamuzi Byabakama yalondebwa ku bwa Ssentebe bw’akakiiko k’eby'okulonda Pulezidenti Museveni.[6] Mu kifo kye nga ssentebe w'akakiiko k'eby'okulonda, yalayizibwa nga mmemba ku lukiiko olufuzi olw'ekitongole ekivunaanyizibwa kuwandiisa abantu mu ggwanga, nga 9 Ogw'omunaana 2017.[8]
Amaka
[kyusa | kolera mu edit source]Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama mufumbo ne Dorothy Kasaija Mugenyi era balina abaana mukaaga ab’obulenzi n’ab’obuwala. [6]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Uganda Judiciary (17 December 2017). "The Judiciary of the Republic of Uganda: Court System: Court of Appeal". Judiciary of Uganda (Uganda Judiciary). Retrieved 17 December 2017.
- ↑ Uganda Judiciary (17 December 2017). "The Honorable Justices of The Court Of Appeal". Judiciary of Uganda (Uganda Judiciary). Retrieved 17 December 2017.
- ↑ Wesaka, Anthony (11 October 2015). "Judiciary transfers 10 High Court judges". Retrieved 17 December 2017.
- ↑ Kafeero, Stephen (18 November 2016). "Justice Simon Byabakama replaces Kiggundu as EC chairperson". Retrieved 17 December 2017.
- ↑ Mubiru, Apollo (18 November 2016). "Justice Byabakama appointed new EC chairperson". Retrieved 17 December 2017.
- 1 2 3 4 5 6 7 Uganda Judiciary (18 November 2016). "Hon. Justice Simon Mugenyi Byabakama New EC Chairman". Judiciary of Uganda. Retrieved 17 December 2017.
- ↑ URN (8 September 2015). "Museveni appoints new Supreme Court judges". The Observer (Uganda) Quoting Uganda Radio Network (URN). Archived from the original on 13 December 2017. Retrieved 17 December 2017.
- ↑ Amamukirori, Betty (10 August 2017). "Justice Byabakama replaces former EC boss on NIRA board". Retrieved 17 December 2017.