Tamale Mirundi
Joseph Tamale Mirundi ( yazaalibwa nga 30 Ogwomukaaga 1964 - n'afa nga 13 Agwomunaana, 2024) yali munnamawulire, omuwandiisi era omwekenneenya w'ebyobufuzi owa Uganda eyalabikira ku ttivvi eziwerako nga NBS ne STV n'emikutu emirala egy'ebyempuliziganya gamba nga leediyo n'emikutu gya 'Social Media ng'asunsula ensonga z'ebyebyobufuzi n'ebikwata ku bantu. Okugeza nga ku Pulogulaamu ya Sharp Talk with Tamale Mirunda ku STV.[1] Mu 2022, Tamale yatandikawo olupapula lw'amawulire ku yintaneeti mwe yafulumyanga amawulire agaayitibwanga Kab News. Yakolako ku NBS Television ku pulogulaamu One on One.[2][3] Ate mu 2021, yeegatta ku STV Uganda n'abeeranga ku pulogulaamu ya The Sharp Talk n'eya Embuga eyalagibwanga emirundi ebiri mu wiiki.[4] Yaliko munnamawulire wa Pulezidenti, era omuwi w'amagezi we ku mikutu gy'amawulire.[5][6][7][8] Joseph Tamale Mirundi ajjukirwa nga munnamawulire omuvumu eyavumirira abali mu buyinza b'alaba nga tebakola bulungi ne kireetawo abantu bangi okwogera ku ndowooza ze n'obukuubagano obw'enjawulo.
Tamale yaliko omuwandiisi w'olupapula lwa Munno nga tannafuuka munnamawulire omutendeke. [9] Mu 2017, yayimirizibwa ku pulogulaamu ya One On One olw’okukozesa olulimi oluvuma. [10] Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni (Pulezidenti wa Uganda ) yamuwa ekirabo ky'emmotoka empya ng'amusiima olw’emirimu gye ey'amawulire. [11] [12] Mirundi yalagula n'okugwa kwa Eric Sakwa eyali RDC w'e Jinja. [13] [14] Ono era yalagula nti ekibiina kya People Power, ekya Bobi Wine kyali kya kufuna ebifo ebiwera mu Paalamenti mu kulonda kwa bonna okwa 2021. [15] Mu 2015, mukyala we omukulu, Juliet Nassimbwa yayagala okwawukana naye olw’obutakkaanya mu byobufuzi. [16] Yalumiriza nti yali yaweebwa obutwa mu 2019. [17] Ono era yatwalibwako mu kkooti nga munnamateeka Mabirizi amuvunaana okutyoboola erinnya lye. [18] Mu 2015, abalamuzi baawa Pulezidenti Museveni anagezi okugoba Mirundi olw’okukumanga omuliro mu bantu bakomenye amateeka. [19] We bwatuukira nga 16 Ogwomukaaga, 2020, Tamale yali awereddwa okulabikako ku pulogulaamu ya One on One ku NBS Television . Enkeera yalangiridde nti pulogulaamu eno yali ejja kubeeranga ku mukutu gwa Facebook ne YouTube.[20]
Ebimukwatako n’obuyigirize bwe
[kyusa | edit source]Tamale Mirundi yazaalibwa Namatovu Molly ne Yowana Mirundi okuva ku kyalo Matale-Kalagala mu Disitulikiti y’e Kyotera edda eyali ekitundu ku Disitulikiti y’e Rakai ng’omwana waabwe ow’omwenda. [21] Kigambibwa nti yasengukira mu Kampala mu 1979 okusoma siniya era omulimu gw’ebyamawulire yagutandikira mu lupapula lwa Munno mu kiseera kye yamala mu mwaka ogwokusatu mu siniya. [22] Yalina diguli ya Bachelors mu by'empuliziganya okuva mu yunivasite y'e Makerere. Yatandikawo empapula z'amawulire bbiri ez'obwannannyini okwali, The Voice ne Lipoota oluvannyuma lw'okutikkirwa ku yunivasite. [22]
Okufa kwe
[kyusa | edit source]Tamale yafa oluvannuma lw'okulwala amawuggwe mu ddwaaliro e Kisubi, nga 13 August 2024, gye yali amaze omwezi mulamba ng’ajjanjabwa. Yalina emyaka 60 egy'obukulu. [23] [24] [25]
Ebiwandiiko ebikozeseddwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.watchdoguganda.com/news/20200714/96328/hours-after-quitting-nbs-kazibwe-bashir-teams-up-with-tamale-mirundi-for-new-political-show-on-stv.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-12-26. Retrieved 2024-08-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://nilepost.co.ug/tag/tamale-mirundi/
- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=ek6hfOuZ1zE
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Story-behind-Tamale-Mirundi-s-sacking/688334-2810636-ujslag/index.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1303732/contract-expired-tamale-mirundi
- ↑ https://flashugnews.com/joseph-tamale-mirundi-biography-early-life-family-politics-and-education/
- ↑ https://www.independent.co.ug/tamale-mirundi-demoted/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/TAMALE-MIRUNDI--RIPPING-OPEN-THE-MOTOR-MOUTHED-POLITICIAN/691232-1659046-hitnpu/index.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1453172/nbs-trouble-tamale-mirundi
- ↑ https://www.pmldaily.com/news/2020/02/museveni-gifts-tamale-mirundi-brand-new-car-over-his-stance-on-mafia-dealings.html
- ↑ https://nilepost.co.ug/2020/02/25/president-museveni-gifts-tamale-mirundi-with-monster-300m-ride/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-06-06. Retrieved 2024-08-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-06-06. Retrieved 2024-08-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.pmldaily.com/news/2020/01/tamale-mirundi-predicts-people-power-will-dominate-parliament-in-2021.html
- ↑ https://bigeye.ug/breaking-tamale-mirundi-separating-with-one-of-his-wives/
- ↑ https://nilepost.co.ug/2019/12/24/i-was-poisoned-and-i-know-who-did-it-says-tamale-mirundi/
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/60229-mabirizi-drags-tamale-mirundi-to-court-for-defamation
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-06-18. Retrieved 2024-08-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://eyalama.com/tamale-mirundi-finally-announces-his-next-move-after-exit-from-nbs-tv-and-top-radio/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/people/tamale-mirundi-a-man-of-humble-origins-NV_193979
- ↑ 22.0 22.1 Tamale Mirundi was life itself and only death could catch up with him
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/political-commentator-tamale-mirundi-dies--4724622
- ↑ https://www.pulse.ug/news/local/tamale-mirundi-is-dead/pzqxyng
- ↑ https://www.independent.co.ug/%f0%9f%94%b4-breaking-news-tamale-mirundi-is-dead-family-confirms/