User talk:Kitakapeter
emboga kirime kirungi nnyo era kiyamba okugonza n'okulongosa olubuto kyetanirwa nyo wano mu Uganda. Ebiseera ebisinga emboga zino zirimibwa mu bitundu ebirina embeera y'obudde enungi okugeza awali amazzi agamala wano mu Uganda zisinga kulimibwa e Kabale kubanga yo embeera y'obudde yayo nyonyogovu so nga ate wano mu buganda bwo zirima ebisera ebitali byankuba olina okuzibiikka olwo osobole okufunamu emboga esibye obulungi enyo era eyo eba ekuwa bulungi ensiimbi.
TOTYA MBEERA
[edit source]O'woluganda kwebaza gyona gy'okola wabula njaga okukutegeeza gwe eyekubagiza olw'embera eyo gyoyitamu wabula nsaba okukutegeza nti eyo embeera osobola okugivamu mu ngeri zino wamanga; Eri eyo eyafilwako taata / maama, engandazo kale nadala nga tolina muntu wo yena nkugamba nti oli muwanguzi kubanga okyali mulamu. Munange nsaba okukugamba nti Katonda ali naawe wabula olina okumanya bino okusobola okubaawo ate nga oli bulungi.
Edda nga nkyali mutto nalina okusomozebwa nga abange baweddewo naye omusajja omu yangamba nti "Peter oli mwana mulungi naye bwaligoberera bino oliba bulungi munsi ekisooka okukuuma nga amazima, empisa, okwewala bi group ebiibi, okwagala nga abantu abalal okusingira dala abakadde awamu n'abaana abato nadala abo abali mubwetaavu awo ensi erikwagala ate nawe n'ekunyumira" ebigambo ebyo sasooka kubitegera naye kumbe omukulu oyo yali bambi naye nga alinga nze naye Katonda amuwe ekiwumulo ekyemiembe.
EDDAGALA LY'EBIWUKA MUBIRIME OKUVA MU MIDDO
[edit source]USER KITAKAPETER/SANDBOX Banange abalimi mu Uganda, mu Africa awamu ne munsi endala ebirime byaffe birunbibwa ebiwuka eby'enjawulo naye njagala okwogera nawe gwe wenna alima ebirime nga kasooli,ensujju, ebitooke, ebijanjaalo, lumonde, ebinyebwa n'ebirime ebirala.
Ensangi zinno tusanze obuzibu nti buli kintu wanno mu Uganda buli kintu kyabusere kale no nekituletera okidirira mu kulima kubanga n'edagala lyabusere naye nina esanyu okukutegeza nti osobola okulima era n'okungula bulungi nga totawanyizidwa biwuka kubanga edagala litwetolodde kumpi buli wamu.
BINNO BYEBIKA BY'EMIDDO EBISOKERWAKO
[edit source]1. Taaba 2. Kamulali abamu bamuyita piripiri 3. Olukoni
EBYETAGISA
[edit source]1- Containa omwokutabulira 2- Amazzi 3- Ekikopo kya tampeko 4- Akasengejja 4- Nawe omuntu
ENTABULA
[edit source]Funa ebaafu otekemu ebikoola bya taaba awamu n'eby'olukoni obikunye ara obiyenge oyiwemu amazzi nga gakigero awo obitabulE oluvanyuma sengejja osabole okufunamu omubisi dira omubisi gw'ofunyemu kunya kamulali omuyiwemu otabule era oluvanyuma funna e kikopo opime ebikopo bibiri otabule mu mazzi agawera litta abiri nga gali mu bomba gy'ogenda okufuyiza.
Awo fuyira ebirime era olabe mu banga tono nga bwebinaaba byeyagala.
ndi KITAKA PETER KU 0782 404 246 OBA 0754 404 246
MBAZZI FARMERS' ASSOCIATION
OKUTABULA
[edit source]Osoka n'ofuna ebaafu notekamu ebikoola by'olukoni, n'ofuna ne bya taaba n'obikunya bulungi n'otekamu amazzi nga gakigero oluvanvuma nolyoka osengejja bwomala olwo n'okunya kamulali naye n'omutabulamu.
Ensonga lwaki kamulali tumusembyayo nti ye abalagala era asobola okukusonsomola notasobola kumaliriza byokola.
ENKOZESA
[edit source]Funa tampeko yaffe eri oyiwemu ebyo byo tabudde oluvanyuma ofune ebomba gyogenda okufuyiza oyiwemu edagala lino okugeza nga ebomba eyalita 20 osobola okuyiwamu ebikopo bibiri oluvanyuma n'oyiwamu amazzi awo nolyoka ofuyira ekirime kyaffe. Munaku ntono ekirime okisanga kyeyagala.
Binno bikutusidwako
KITAKA PETER 0782 404 246 OBA 0754 404 246 MBAZZI FARMERS ASSOCIATION
OKULUNDA EKOOKO ENANSI NENZIJAJABA
[edit source]OKULUNDA EKOOKO ENANSI NENZIJAJABA
[edit source]userkitakapeter/sandbox Wano mu Uganda abantu bangi balunda enkooko enansi nga tebamanyi kujajaba era bamanyi nti eddagala ezzungu lyerijaajaba ekooko so nga ate eddagala eryaffe elye kinansi.lijaajaba bulungi ekooko zaffe era ngoyagala okuwonya ekooko osoka kunzigema otya era ogema bulwande ki.omusuja, senyiga ndwadde endala.1Bwoba oyagala okumanya endala eryo ,soka omanye bino ekisoka;omululuza bikola,ekiroowa bikola,Ejaga bikola, Kayaayana bikola,Eppapali esaja milandila,Katungulucuumu nga bubiri EKikakala bikola.awo olyoke afumbe bwegamala okuwola ziwe zinye.awo ngo jaajaba nkooko zaffe Ssali Godfrey 0701271610 MBAZZI FARMERS’ ASSOCIATION.
OKUMEZESA ENDOKWA Z'EMITI N'OKUZIRABIRIRA
[edit source]user kitakapeter/sandbox 1, ENYANJULA Oluvanyuma lw'okulaffubana kwa Gavumenti eya wakati, eya Buganda awamu n'ebitongole ebyo bwa nakyeewa naddala ekya SCC-VIA Agro Forestry prLyaoject mu Masaka, Rakai, ne Lyantonde, abantu balabye nga ddala bali mu katyabaga ak'obutonde bwensi okwonooneka. Wano kwekusalawo baffungize nate basobole okuzaawo embeera nga bweyalinga edda. Okusimba emiti ly'erimu ku makubo ag'okweyambisa mukukuzaawo obutonde bwensi obweyagaza o kusinziira ku migaso egiva mu miti omuli; a.1 Egimu ku migaso gy'miti. EMBAAWO [Emisizi,emivule,Grevelle a,podo n'milala] ]
Ebibala [emiyembe,amapeera,ovakado,emichungwa] Eddagala[Ekiffabakazi,moringa,neemtree,Nnyambalazittonnya.......]
Okuzza obujjimu mutaka [omuzibandegeya, calliandra,emituba,ssettala ]
Okunyiriza olugya [Kalivario,nkalati,ak'amadaala.....] Ebikome mu birime [Emisizi,emigavu,emituba,sesbania........] Emmere y'ebisolo [Emisasa,calliandra,sesbania......] Wano wetulabidde nga buli muntu asaanye abeere ng'amanyi okwemwreza endokwa n'endabirira yonna ekwata ku kusimba emiti. 2 .o ENTEEKATEEKA Y'OKUMEZA EMITI MU BUSIRI [Nursery Establishment] Nursery[ tujja kukigandawaza nti Nasale] kye ki. Ebirime byonna, okufaannanako ng'omuntu nga bikyaali bito byetaaga okwegenndereza. N'olwennsnga eyo ,kyetaaagisa okubirabirira mu kifo eky'enjawulo ekimanyiddwa nganursery.
ENSIGO Kirungi omulimi asimbe ensigo ennungi ezisobola okumera obulungi.Wewale ensingo endwadde osobole okufuna endokwa ennamu obulungi. OKUSIMBA . ENSINGO zibikke ettaka erisaanidde okusinziira ku bunene bwaazo era ziwe amabanga agamala bwekiba kisoboka minyiriri.Osobola okusimba obuterevumu bukopo oba wansi ku taka egyerere AMAZZI.
Fuba okuluba nti olina amazzi agasobola okukuza emiti,endokwa . Kyandibadde kirungi nofuna ekifo ekiriranye amazzi ag'ensulo oba omugga
Ekyokwetegereza. AKASIRI K'OKUMEREZAMU ENSINGO KANO KAZIMBEKO EKISIKIRIZE ERA NGA KINO KIKOLEBWA okusinziira ng'enjuba bwetambula , endondo enyimpi zibeera ku luuyi olw'ebugwanjuba.
EBIKOZESEBWA [TOOLS]. 1. Ekitiiyo. 2.Akakumuuta ettaka. 3.Ejjambiya. 4.Ekifukirira [watering can] 5.Emigogo/ebibawo. 6.Obuveera /ebyaayi emisumaali/akagoogwa 7.Essubi /ebiwempe 8.Ettaka 9.Omusenyu 10.Ensigo 11.Emiti/obuti 12.Amazzi [water source]. NGA omaze okukola ebyo.otandika enimiroyo olwo notandika okurabilira bed yo bwekiba kwakyeya oyinza okusimako obusasaro ku bed yo no'lwekyo notandika okurabirira obulungi. KANKOME AWO MBADE SALONGO SSALI GODFREY 0701-271-610
OKULIMA EBITOOKE EBYOMULEMBE
[edit source]OKULIMA EBITOOKE EBYOMULEMBE
[edit source]Ebitooke byebimera ebivaako emmere eya amatooke. Kino kyekika kyemmere ekikyasinze okuganja wano mu Buganda.
Bino wammaanga byebimu ku bika bye bitooke; Kibuzi, Kisansa, Mpologoma, Nakitembe, Nakinyuka Nakabululu Bogoya, Emodde, Gonja, nebirala.
Omuntu yandisanye abirime bwati; Longoosa bulungi wooyagala okusimba olusuku lwo naye nandilowozeza nto totegeka wagimu nnyo olw'ensonga nti olusuku lulina okulisiibwa. Ssima ebinnya ebigazi obulungi ate wansi kyandibadde kyamagezi okutuuka ku ttaka erimyufu. Teekamu obusa obukaze obulungi oba nakavundiira awooze obulungi. Bwomala noonya endu ezitaliiliddwa biwuka oba zirongose bulungi ozinnyike mu ddagala nga to nazisimba mu ttaka. Zisimbe naye ekinya to kijuza ttaka lekawo ekiiko amazzi wegasobola okuleggama era bwomala obike nebisubi.
ENTUUNGO KIRIME KYA TUUNZI NNYO
[edit source]ENTUUNGO KIRIME KYA TUUNZI NNYO
[edit source]Obadde okimannyi nti entuungo kirime kyabeeyi nnyo era nga abantu mu mambuuka bakifunyemu nnyo kale n'olweekyo na ndiayagadde okukubiriza abantu oku funa okumanya ku kirime kino kubanga baganda baffe ab'engulu bafunyemu nyo kubanga kati kilo emu ey'ekirime kino egula wakati wa shs. 5,000/= ne 55,000/= ate nha batugamba sikizibu kulima.
Awo no we nsabira omuntu yena alina kya kitegeerako atuwe ebikikwaatako olwo omwaaka 2015 tusobole okuna mu bulimi.
OMUSANA
[edit source]Omusana gutandiise eri abalimi banange mbakubiriza nti ebirime bisangidwa mu nimiro kyoka nga omusana mungi nnyo ekitetagiisa wabula nga ebirime nga kasooli bikosedwa.
Naye abo abasobola mbakubiriza nti ebirime ebimu mu bifukirire bisobole oku kula obulungi osobole oku takiriz akubanga abakugu bagamba nti omusana gugenda kutukosa ffe nga abalimi okutuuka mu mwezi gw'okubiri naye obwolumu nze nganze nsubira tuyinza oku gifuna mu gw'okusatu.
EMIGASO J'OKUZIMBA FAAMU
[edit source]EMIGASO JOKUZIMBA FAAMU. Faamu kyekintu buli muntu akoze ku sente kyeyandi etanidde okukola kubanga oba alina okutegekera obukadde bwe era n'embera eyinza okugwaawo mu bulamu baffe obwabulijjo kale no kyamagezzi omu tegeka.
Era gino byebimu ku migaso gyayo; 1.Ebintu byona byoluunda bibeera wamu ngatebisasaanye. 2.Osobola okumanya ebisolo byo ebiriwo nebi taliiwo ku faamu . 3.Obusa oba muyite [manure] akungganira wamu ku faamu. 4.Omanya omuwendo gwebisolo byolina ku faamu yo. 5.Kikuyambako okukozesa abakozi abatonoddala kubanga oba omanyi kyewetaaga ku faamu yo. 6.Kikuyambako okukuuma ebisolobyo obutabbibwa kubanga biba munda mu faamu.