Jump to content

Abdallah Mubiru

Bisangiddwa ku Wikipedia
Abdallah Mubiru
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga9 Gwamwenda(Mutunda) 1975 Kyusa Wikidata
Omulimuassociation football coach Kyusa Wikidata
Coach of sports teamProline FC, Uganda Cranes, Uganda Cranes, Uganda Cranes, Kampala Capital City Authority FC, Police FC (Uganda) ., Kiraabu ya Vipers SC, Kampala Capital City Authority FC Kyusa Wikidata
Omuzannyoomupiira ogw'ebigere Kyusa Wikidata

Abdallah Mubiru Munnayuganda omutendesi w'omupiira mu Uganda era nga yaliko omuzannyi w'omuzannyo guno gwe gumu nga tannawummula. Mu kaseera kano, Mubiru ye mutendesi wa Kiraabu ya KCCA FC ezannyira mu liigi ya Uganda ey'okuntikko. Ono era yatendekako ne ttiimu endala ez'enjawulo mu liigi emu kwossa n'ebweru wa Uganda. Mubiru ne ttiimu y'eggwanga enkulu yagitendekako.

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Abdallah Mubiru mutabani w'omwami Abdallah Nsubuga n'omukyala Amina Nakibuuka era yazaalibwa mu 1975. Okusoma yakutandikira ku Kanyange Primary School oluvannyuma gye yava okwegatta ku Kibuli Secondary School. Obuyigirize bwe mu by'okutendeka omupiira buli ku ddaala erya layisinsi eya CAF A.[1][2]

Nga omuzannyi w'omupiira

[kyusa | kolera mu edit source]

Mubiru mu biseera bye ng'omuzannyi w'omupiira yazzannyanga mu makkati g'ekisaawe era nga yayolesanga obuvunaanyizibwa ku kisaawe mu kifo ekyo. Mubiru Yazannyirako mu KCCA FC, era nga eno yali omu ku bazannyi abatambulirwangako ensonga KCCA bwe yali ewangula ekikopo kya liigi ya Uganda mu mwaka 1997. Kiraabu eno yagizannyira okuva mu 1996 okutuuka mu 1998.[3] Omutindo Mubitu gwe yayolesa gwamuviirako okuyitibwa okuzannyira ttiimu ya Uganda eya Cranes okuva mu 1993 okutuusa 1995.[4]

Omulimu gw’obutendesi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mubiru okutendeka omupiira yakutandika mu 2012 ku kiraabu ya Proline FC nga 3 Ogwolubereberye 2012, era n'agitendeka okutuusa nga 27 Ogwekkumi 2013.[5] Mu 2014, Mubiru yeegatta ku KCCA FC okugitendeka nga 26 Ogwekkuminoogumu 2014, okutuuka nga 30 Ogwomukaaga 2015.[6] Nga 18 Ogwomusanvu 2016, Mubiru yalondebwa ku butendesi bwa Vipers SC kyokka nga wano teyalwawo kuba ennaku z'omwezi nga 4 Ogwekkumineebiri 2016, yali amaze okuva ku bukulu buno.[7] Mubiru bwava ku Vipers SC yeegatta ku Police FC nga 20 Ogwekkumineebiri 2016 okutuusa mu Gwokuna nga 13 2022 era nga guno gwe gumu ku mirimu gy'obutendesi Mubiru gyakyasinze okuwangaalirako.[8][9][10] Mu 2023, Abdallah yalondebwa okumyuka omutendesi wa ttiimu y'eggwanga Uganda ey'abakyala eya Crested Cranes kyokka Mubiru obuvunaanyizibwa buno yabugaana olwensonga enkusike.[11]

Nga omutendesi wa Mbeya City

[kyusa | kolera mu edit source]

Mubiru yaliko omutendesi mu liigi y'eggwanga lya Tanzania ku kiraabu ya Mbeya City okuva mu mwaka 2022 okutuuka mu 2023 kyokka yadde wano teyalwawo nnyo yafuna okusoomozebwa okw'amaanyi.[12] Bino byaliwo mu mupiira ogw'okusunsula aneetaaba mu liigi ya Tanzania Premier League sizoni eyaddako wakati wa Mbeya City (eyali erwana obutasalwako), ne Mashujaa FC (eyali erwana okulinnya mu liigi enkulu) mu kisaawe e Sokoine e Mbeya. Mashujaa FC yateeba ggoolo mu ddakiika ya 87 era olw'essanyu eringi, abazannyi, abatendesi, kwossa n'abakugu abalala baasituka mu bifo byabye okugenda okujaganya n'omuteebi wa ggoolo John Mudeba. Oluvannyuma lw'okujaguza, abatendesi bwe baali badda mu bifo byabwe, omutendesi w'abakwasi ba ggoolo owa Mashujaa FC yalumba Mubiru n’amukuba ekikonde mu feesi era bwatyo Mubiru nagwa wansi ng'akutte mu feesi. Yadde bino byali bityo, Mashujaa FC yanyweza ggoolo yaayo era omupiira ne guggwa ggogolo 1-0 bw'etyo Mbeya City, Mubiru gye yali atendeka n'esalibwako okuva mu liigi gye yali emazeemu emyaka 12 ate yo Mashuaa Fc n'esuumusiibwa okugenda mu liigi ya Tanzania Premier.[13][14][15]

Okutendeka ttiimu y'eggwanga Uganda

[kyusa | kolera mu edit source]

Mubiru omulimu gw'obutendesi tagukola ku kiraabu zokka wabula ne ku tiimu z'eggwanga atendeka era ng'obuvaanyizibwa buno yabukola ku tiimu ya Uganda enkulu okuva nga 30 Ogwomwenda 2019 ng'omu ku bamyuka b’omutendesi Milutin Sredojević (Micho) mu kiseera ekizibu Uganda we yazannyira emipiira egy’okusunsulamu abalizannya mu FIFA World Cup. Ono era yali akozeeko ng'omutendesi ow'ekiseera emirundi ebiri ku tiimu yeemu era ng'omulundi ogwasooka gwaliwo wakati wa 10 Ogwomusanvu 2019 okutuuka nga 30 Ogwomwenda 2019 ate ogwokubiri nga 2 Ogwokusatu 2021 okutuusa 16 Ogwokuna 2021.[16][17][18][19][20]

Mu mwezi Ogwekkuminoogumu 2023, Mubiru yaddayo mu kiraabu ya KCCA FC ng’omutendesi omukulu.[21][22][23][24][25]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-01-11. Retrieved 2024-11-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. ↑ https://www.independent.co.ug/kcca-fc-yet-to-reach-its-best-coach-abdallah-mubiru/
  3. ↑ https://www.kccafc.co.ug/abdallah-mubiru-named-kcca-fc-head-coach/
  4. ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/soccer/mubiru-handed-second-chance-to-revive-kcca--4432368
  5. ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/abdallah-mubiru-named-proline-head-coach-1506090
  6. ↑ https://www.kccafc.co.ug/abdallah-mubiru-named-kcca-fc-head-coach/
  7. ↑ https://upl.co.ug/mubiru-re-unites-with-nsimbe-at-vipers/
  8. ↑ https://www.bukedde.co.ug/bukedde/91369/abdallah-mubiru-eyes-vipers-scalp-in-top-of-t
  9. ↑ https://sports.mtn.co.ug/2022/04/13/police-football-club-part-ways-with-head-coach-abdallah-mubiru/
  10. ↑ https://www.independent.co.ug/tumwesigye-zaga-will-shine-at-police-fc-kasingye/
  11. ↑ https://www.independent.co.ug/mubiru-turns-down-crested-cranes-job/
  12. ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2025-03-18. Retrieved 2024-11-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. ↑ https://www.pulsesports.ng/football/story/mashujaa-coach-condemns-unfair-attack-on-mubiru-2023062620013264072
  14. ↑ https://nbssport.co.ug/2022/07/30/mubiru-agrees-two-year-deal-with-tanzanias-mbeya-city/
  15. ↑ https://chimpreports.com/coach-mubiru-linked-to-tanzanian-side-mbeya-city/
  16. ↑ https://www.independent.co.ug/coach-mubiru-explains-choice-of-players-as-uganda-cranes-prepares-for-friendly/
  17. ↑ https://www.independent.co.ug/friendly-match-helped-us-assess-weaknesses-okwi/
  18. ↑ https://www.independent.co.ug/football-fraternity-pays-tribute-to-hassan-wasswa-as-he-retires/
  19. ↑ https://www.independent.co.ug/uche-mubiru-drops-out-of-uganda-cranes-ahead-of-afcon-qualifiers/
  20. ↑ https://www.independent.co.ug/afcon-qualifiers-uganda-cranes-provisional-squad-unveiled/
  21. ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-01-11. Retrieved 2024-11-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  22. ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/soccer/mubiru-optimistic-despite-kcca-s-extended-trophy-drought-4590162
  23. ↑ https://kawowo.com/2023/11/13/kcca-unveil-abdallah-mubiru-as-new-head-coach/
  24. ↑ https://softpower.ug/abdallah-mubiru-appointed-new-kcca-fc-head-coach/
  25. ↑ https://nbssport.co.ug/2024/06/19/mubirus-winning-philosophy-fuels-kcca-resurgence/