Police FC (Uganda) .
Police FC kiraabu ezannya omupiira ogw'ebigere mu ggwanga Uganda.[1]
Kiraabu eno yatandikibwawo mu mwaka gwa 1965 n'ekigendererwa eky'okubeera kiraabu y'omupiira essa ekitiibwa mu nnono z'ekitundu awamu n'okukulakulanya ebitone mu ngeri y'okwongera ku nkolagana wakata wa poliisi n'omuntu wabulijjo okusobola okulwanyisa obumenyi bwamateeka mu bitundu ebyenjawulo. Obwannanyini bwa Kiraabu eno buli mu mikono gyekitongole ki Uganda Police era kyekyajitandikawo.[2]
Ebyafaayo
[kyusa | kolera mu edit source]Police Fc yawagula ekikopo kya liigi ya Uganda ekyasooka mu 2005.[3] Mu mwaka 2006 Police Fc yasitukira mu kikopo kya kiraabu empanguzi mu kitundu kya CECAFA ekya CECAFA Club Cup obudde buno ekiyitibwa Kagame Interclub Cup.[4]. Obuwanguzi Poliisi Fc mu myaka egyasooka bwesigamizibwa nnyo ku mwami Denis Obua ng’omuzannyi ate oluvannyuma ng’omutendesi. Mu myaka gya Obua, yasobola okukozesa abalenzi abato okubajjamu omupiira omukwafu ogwayamba kiraabu eno okufuuka eyamaanyi. Obua bwe yafuuka pulezidenti w’ekibiina ekitaba ebibiina by'omupiira mu ggwanga ki FUFA obuvunaanyizibwa bwa Police Fc yabukwasa Steven Mulinde. Police Fc bwetyo yeyongera okukulakulana n'okwetaba mu mpaka eziri ku mitendera gyamawanga agenjawulo.[5]
Ekisaawe
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kiseera kino Police FC eri mu kuzimba ekisaawe ekyayo ku luguudo Kiira Road mu Kampala era esuubira okutandika okukikozesa mu sizoni ya 2024/2025. Ekisaawe kino era kyakubaako nekifo awaddukirwa emisinde [6]
Obuwanguzi obutuukiddwaako
[kyusa | kolera mu edit source]- Liigi ya Uganda eya Premier: 1 (2005).
- Ekikopo kya kiraabu za CECAFA: 1 (2006)
- Fufa Big League: 1 (2024)
Omukululo mu mpaka za CAF
[kyusa | kolera mu edit source]- CAF Champions League: Omulundi gumu
- 2006 – Laawundi/ omwetoloolo ogwokusunsulamu
- CAF Winners' Cup : Omulundi gumu
- 2003. Omutendera ogusooka
Olukalala lwabazannyi ba Police Fc
[kyusa | kolera mu edit source]Luno lwe lukalala lwabazannyi ba Police Fc abazannya mu sizoni ya 2023/2024[7] Ku bbo, bano bebazanya ne Kiraabu ya Kataka nga 02-06-2024
| Omujoozi | Erinnya ly'omuzannyi |
|---|---|
| 16 | Kasibante E. |
| 3 | Otim Edmond |
| 4 | Ssentume Joseph |
| 15 | Kiryowa George |
| 14 | Bukenya Allan |
| 13 | Kayongo Samuel |
| 31 | Muwanguzi Timothy |
| 8 | Eyam Ivan |
| 17 | Kabuye Steven |
| 10 | Kalanzi Denis |
| 9 | Ogwang Isaac |
| 2 | Bugembe A. |
| 21 | Owalamu M. |
| 32 | Mugume E. |
| 19 | Obedi B. |
| 20 | Kacancu G. |
| 24 | Eragu G. |
| 7 | Male R. |
| 12 | Wasswa H. |
| 23 | Ssenninde D. |
| 35 | Onyai D. |
| 18 | Otto D. |
| 22 | Kiwalazi T. |
Abo abatali bazannyi
[kyusa | kolera mu edit source]Ensengeka ya ttiimu ez’abakugu
[kyusa | kolera mu edit source]- Omutendesi : Simon Peter Mugerwa
- Omuyambi w'omutendesi asooka: Robert Sekweyama
- Omuyambi w'omutendesi ow'okubiri: Nestroy Kizito
- Omutendesi wa bakwasi ba ggoolo: Ben Kalama
- Avunaanyizibwa ku dduyiro: Fazil Ibrahim
- Omusawo: Kennedy Kukundakwe
- Omusawo w’amagumba: Senyondo Muhamood[8]
Enzirukanya y’emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]- Ssentebe: Kaminsona wa Poliisi (SCP) Timothy Halango
- Omumyuka wa ssentebe: Livingstone Lajan
- Akulira emirimu (CEO): PK Arinaitwe
- Abakiise ku lukiiko olufuzi: Omuyambi wa Kaminsona wa Poliisi (ACP) Abu Kalule, ACP Hilary Kulayigye, ACP Claire Nabakka, Sandra Nsaire
- Akulira eby'amawulire: Abdusalam Kigozi
- Akulira enkolagana n’abantu (PRO): Omuyambi wa Kaminsona wa Poliisi (ACP) Claire Nabakka
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ upf_admin (2022-10-10). "Police FC adds 14 new faces to 2022/23 FUFA Big League roster". Uganda Police Force (in American English). Retrieved 2026-10-13.
- ↑ upf_admin (2022-10-10). "Police FC adds 14 new faces to 2022/23 FUFA Big League roster". Uganda Police Force (in American English). Retrieved 2026-10-13.
- ↑ Zziwa, Hassan Badru (2022-02-04). "Police FC won 2005 league title: Who were the stars?". The Observer Media Ltd (in American English). Retrieved 2026-10-13.
- ↑ Reporter, Vision. "Police grab CECAFA title". New Vision. Retrieved 2026-10-13.
- ↑ Katongole, George (2020-05-03). "Were Police FC the best in the 2005 Uganda Super League?". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2026-10-13.
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2025-01-24. Retrieved 2024-08-13.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Uganda Police FC Players, 26-27 Squad - AiScore". www.aiscore.com. Retrieved 2026-10-13.
- ↑ Muyita, Joel (2023-09-20). "Police FC name new coaching unit". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2026-10-13.