Aggrey Awori

Bisangiddwa ku Wikipedia

Aggrey Siryoyi Awori (23 Ogwokubiri 1939 – 5 Ogwomukaaga 2021) munnabayanfuna mu Uganda, munnabyabufuzi era munnabyamizannyo era eyaweerezaako nga minisita w'ebyempuliziganya ne tekinologiya mu kabineeti ya Uganda okuva nga 16 Ogwokubiri 2009 okutuuka nga 27 Ogwokutaano 2011.[1] Ngatannagenda mu kifo ekyo, yakiikirirako ekitundu kya Samia mu Bugwe ey'obukiikakkono, mu disitulikiti y'e Busia mu paalamenti ya Uganda okuva mu mwaka gwa 2001 okutuuka mu mwaka gwa 2006. Awori yali musajja ayogera ennyo ku ludda oluvuganya gavumenti mu paalamenti ow'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya Uganda People's Congress (UPC). Mu mwaka gwa 2007, yava mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya e abandoned the Uganda People's Congress (UPC) ne yeegatta ku kibiina kya National Resistance Movement ekiri mu buyinza.[2]

Obuvo[kyusa | edit source]

Awori yazaalibwa nga 23 Ogwokubiri 1939, ku kyalo Budimo mu disitulikiti y'e Busia , okuliraana ensalo eyawula Uganda ne Kenya nga mwana wa kkumi ku baana ekkuni n'omusanvu nga bwe baazaalibwa mu maka gaabwe. Bazadde be baali Canon Jeremiah Musungu Awori, eyatandikawo ekibiina kya African priest of the Anglican Church in East Africa ne mukyala Mariamu Odongo Awori, omusawo era omusomesa mu kitundu. Baganda ba Aggrey mulimu n'eyaliko omumyuka wa pulezidenti wa Kenya owoomwenda Arthur Moody Awori[3] ne Mary Okelo, omukyala eyasooka mu East Africa okukulira ettabi lya Barclays Bank era omutandisi wa bbanka y'abakyala mu Kenya eya Kenya Women Finance Trust, bbanka y'abakyala yokka mu Kenya. Mary era ye mutandisi w'amasomero ga Makini Schools, omuyungo gw'amasomero mu East Africa ogukulembera ebyenjigiriza.[4]

Awori yalina amaka mu kibuga ky'e Busia Munisipalite n'ennyumba gye yalina mu kyalo mu disitulikiti y'e Bugiri .[5]

Okusoma[kyusa | edit source]

Awori yasomera ku ssomero lya Nabumali High School mu disitulikiti y'e Mbale ne ku King's College Budo, mu disitulikiti y'e Wakiso , nga gonna gali mu Uganda. Ye yali omukulembeze w'abayizi wa Canada House ku ssomero lya King's College Budo. Bwe yali ng'akyali ku ssomero lya King's College Budo (1959 okutuuka mu mwaka gwa 1961), Aggrey yalondewa wamu ne banne abalala abaali abagezi okugenda okutendekebwa mu bukodyo bw'ekinnamagye mu ttendekero lya erya Sandhurst Military College mu ggwanga lya United Kingdom. Taata we Canon Awori, however, yagaana ekiteeso kya mutabani we eyali munnabitone ennyo okwegatta ku magye.[6] Okuva mu mwaka gwa 1961 okutuuka mu mwaka gwa 1965, yafuna sikaala okusomera ku ssettendekero ya Harvard University. Mu mwaka ogwasooka yasoma amasomo ga ssaayansi wa nuclear physics, naye oluvannyuma yakyusa n'asoma essomo ly'ebyobufuzi n'enfuna (political economics).[7]

Bwe yali ng'akyali ku ssettendekero wa Harvard, Aggrey yafuuka omuntu eyasooka mu byafaayo by'emizannyo gya ssettendekero ono okuwangula emizannyo esatu omwali Okubuuka kwa long jump, high hurdles, ne 60-yard dash, tying the heptagonal record in the hurdles n'okuteeka akabonero ku kasaze. Atuuse ku bintu ebyobuwanguzi bingi ekyamuyamba okutuuka ku buwanguzi bw'emizannyo gya ssettendekero eno.[8] Mu kadde we yatikkirirwa ku ssettendekero wa Harvard, Awori yalina likoda z'emizannyo egizannyirwa munda mu bizimbe ttaano n'egizannyirwa wabweru w'ebizimbe ssatu.[9] Era yakiikirira Uganda mu misinde egya mmita ekikumi mu kkumi mu mizannyo gya 1960 Summer Olympics ne mu mizannyo gya 1964 Summer Olympics, wabula yalemererwa okuwangulayo omudaali gwonna.[10]

Awori alina diguli eyookubiri mu byenfuna okuva ku ssettendekero ya Syracuse University mu U.S.[11]

Emirimu[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 1967, Awori yalondebwa nga ssentebe wa terefayina ya Uganda Television (UTV) owa kuno. Mu mwaka gwa 1971 Awori yasibibwa okumala emyezi ebiri oluvannyuma lwa Idi Amin okuvuunika gavumenti eyaliko, kubanga mu kaseera ako Amin mwe yasooka okugerezaako okuvuunikira gavumenti, ono teyaweereza kwogera kwa ku nsonga eno, kyokka nga yamulimba nti bino byali biweerezeddwa. Yagenda mu buwanganguse bw'eyobufuzi mu Kenya,[12] gye yasomera eby'amawuli by'ebyobufuzi ku ssettendekero ya University of Nairobi okutuusa mu mwaka gwa 1976 oluvannyuma n'atandika okulambula amawanga agali ku lukalu lwa Africa nga muno yakyalira amawanga omwali Tanzania, Liberia ne Senegal era n'adda e Nairobi mu mwaka gwa 1979.

Oluvannyuma lw'okuggyibwako kwa Idi Amin mu mwaka gwa 1979, Awori yakomawo mu Uganda. Wano yavuganya ku kifo kya National Assembly of Uganda, wabula yawangulwa.[13] Oluvannyuma yafuuka omubaka wa Uganda ggwanga lya United States, okutuuka lwe yakyusibwa Tito Okello Lutwa mu mwaka gwa 1985. Yaweerezaako ng'omubaka wa Uganda e Belgium okuva mu mwaka gwa 1985 okutuuka mu mwaka gwa 1987 bwe yaggibwa Yoweri Museveni mu kifo kino.[14]

Oluvannyuma lw'okufuna obubudamu obutono mu ggwanga lya Kenya mu kibuga kya Nairobi, Awori yatandika okuzimba ekibinja ky'abayeekera ekyakolera mu kitundu ky'obuvanjuba bwa Uganda ekyatuumibwa Force Obote Back Again (FOBA). Yategeeza nti ekyamukozesa kino kwali kwagala kunyiiza Museveni eyali akulira eggye lya National Resistance Army, eryali lyawamba ebintu bye. Mu mwaka gwa 1992, yasattuluka n'ekibinja kye eky'abayeekera okusinga ekyali kijjudde abalwanyi abato. Mu mwaka gwa 1993, Awori yasisinkana ne Museveni mu New York era awo yali alondeddwa okubeera ekitundu ku lukiiko lwa Constituent Assembly okubaga ssemateeka wa Uganda nga kw'ogasse n'okufuuka omubaka wa paalamenti.[15]

Yakwata ekifo kya kusatu mu kalulu kw'obwapulezidenti akaakubibwa mu mwaka gwa 2001 , oluvannyuma lw'okufuna ekitundu kimu n'obutundu ana mu kamu eky'obululu.[16]

Yakiikirira ekitundu kya Samia, mu Bugweri ey'obukiika kkono, mu disitulikiti y'e Busia mu paalamenti ya Uganda okuva mu mwaka gwa 2001 okutuuka mu mwaka gwa 2006. Awori yali musajja ateerya ntama ku ludda oluvugaya gavumenti mu paalamenti ow'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya Uganda People's Congress (UPC). Mu mwaka gwa 2007, yava mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya UPC ne yeegatta ku kibiina ky'ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement.[17]

Yali minisita w'amawulire n'ebyempuliziganya kko ne tekinologiya mu kaabineeti ya Uganda okuva nga 16 Ogwokubiri 2009 okutuuka nga 27 Ogwokutaano mu mwaka gwa 2011. Mu kukyusakyusa mu baminisita ba Uganda okwakolebwa nga 27 Ogwokutaano 2011, yasuulibwa ku kifo kino era n'asikizibwa Ruhakana Rugunda.[18] Ng'ogasse ku kino, yaliko omubaka wa paalamenti mu paalamenti ya Uganda.).[19]

Ebimukwatako ng'omuntu[kyusa | edit source]

Yali muumbo ne Thelma Awori, eyali ssenkulu w'ekitongole ekikola ku nteekateeka z'ekibiina ky'amawanga amagatte United Nations Development Programme. Era wamu baali bazadde nga balina abaana abakulu mukaaga.[20]

Aggrey Awori, yafiira ku myaka kinaana mu ebiri (82), yafa obulwadde kwa ssenyiga omukwambwe oba ssenyiga lumiimamawuggwe (COVID-19) nga 5 Ogwomusanvu 2021, mu ddwaliro ery'obwannannyini e Naalya, mu Kampala.[21][22]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. https://web.archive.org/web/20150413225108/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/673643
  2. https://web.archive.org/web/20150414005819/http://www.newvision.co.ug/D/8/13/603500
  3. http://dailykenya.blogspot.com/2012/04/dr-arthur-moody-awori-uncle-moody-ebs.html
  4. https://www8.gsb.columbia.edu/researcharchive/articles/87
  5. https://web.archive.org/web/20150414005341/http://www.newvision.co.ug/mobile/Detail.aspx?NewsID=632367&CatID=387
  6. https://web.archive.org/web/20150414005341/http://www.newvision.co.ug/mobile/Detail.aspx?NewsID=632367&CatID=387
  7. https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/aggrey-awori-gifted-orator-master-of-all-trades--3464672
  8. https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/athletics/awori-an-olympian-of-great-distinction-3464464?view=htmlamp
  9. {{cite web}}: Empty citation (help)
  10. https://web.archive.org/web/20200418011126/https://www.sports-reference.com/olympics/athletes/aw/aggrey-awori-1.html
  11. http://www.ict.go.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=49&Itemid=71
  12. https://journals.sagepub.com/doi/pdf/10.1080/03064227908532896
  13. https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/athletics/awori-an-olympian-of-great-distinction-3464464?view=htmlamp
  14. http://www.ict.go.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=49&Itemid=71
  15. https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/aggrey-awori-gifted-orator-master-of-all-trades--3464672
  16. http://news.bbc.co.uk/2/hi/africa/1209952.stm
  17. https://web.archive.org/web/20150414005819/http://www.newvision.co.ug/D/8/13/603500
  18. https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
  19. https://web.archive.org/web/20150413215846/http://www.newvision.co.ug/D/8/13/675212
  20. http://www.ict.go.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=49&Itemid=71
  21. https://www.the-star.co.ke/news/africa/2021-07-05-former-ugandan-presidential-candidate-aggrey-awori-dies/
  22. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/raila-odinga-eulogises-aggrey-awori-3463368

External links[kyusa | edit source]