Alice Nabatanzi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Alice Nora Nabatanzi (yazaalibwa mu mwaka gwa 1988), Munnayuganda Munnassomabimera, munnonyereza era omusomi.[1] Mu mwaka gwa 2023, yawangula engule y'omutandisi asinga bwe yawandika akatabo ku nsengekera n'enogoosa y'amazzi empangaazzi. Nabatanzi era yemutandisi w'ekitongole kya Natural Products Industry Advancement Network Africa (NAPIANA).[2] Mu mwaka gwa 2022, Nabatanzi, eyali lecturer mu tendekero lya Sayansi w'Ensibo, nawangula[3] the prestigious Organization for Women in Science for the Developing World (OWSD) eky'omuwendo gw'ensimbi za US$50,000.[3] Yawangula n'engule endala ezenjawulo.[4][5]

Mu by'emisomo, Nabatanzi awereza nga lecturer mu nsoma yenkwatagana y'abantu n'eneyisa n'emisago jy'ebimera (ethnobotany) ku Yunivasitte y'eMakerere, Yunivasitte ya Gavumenti ye Uganda esinga obunene n'obukulu.[6] Yatandika okukola mu kifo kyalimu kati. nga yakamaliriza okutikibwa ne her PhD, mu mwaka gwa 2016 ku mwaka abiri mu munaana (28).

Ebimukwatako[kyusa | edit source]

Obulamu obwasooka[kyusa | edit source]

Mu kubuuzibwa mu mwaka gwa 2018, yazaalibwa mu ntandikwa yo mwaka gwa 1988 eri Fred Ssempala eyali "omubazzi w'ebitabo ey'ekozesa", ne Annet Florence Ssempala, omukyala asiiba ewaka era omunnabizinesi. Ye mwana ow'okubiri mu Famire y'abaana battaano omuli abawala babiri n'abalenzi basattu.[7]

Emisomo[kyusa | edit source]

Nabatanzi yatikirwa okuva ku Yunivasitte y'eMakerere mu mwaka gwa 2011. Alina Diguli ya Sayansi mu Nkwatagana wakati w'abantu n'eneyisa ,emigaso n'embeera z'ebimera (Ethnobotany).[8] Yafuna diguli mu Bukugu bwa Sayansi ne mu Tekinoloogiya w'ebintu ebikolebwa mu bimera n'olujegere lw'emigaso (Natural Products Technology and Value Chains) mu mwaka gwa 2011 ne diguli ya Doctor of Philosophy diguli mu nsomabuziba obujibwa mu bimera (Phytochemistry) n'endagakintu ezigyibwa mu bimera nga bilina omugasso mu by'obulamu (Nutraceuticals), byona ku Yunivasitte y'eMakerere.[5]

Mu mwaka gwa 2018, Yasimibwa ne three-year post-doctoral fellowship eyamuweebwa Yunivasitee ye Pretoria mu South Africa, ne saawa z'okunyonyereza zigabanyiziddwa wakati wa Yunivasitte ye Makerere University ne Yunivasitte ye Pretoria.[9] Emisomo gino jy'asasulibwa ne Carnegie Corporation of New York, wansi wa Regional Initiative in Science and Education (RISE), eyaliwo okuva 2008–2017, in the African Natural Products Network section (Rise-Afnet).[9]

Emisomo[kyusa | edit source]

Mu luwumula wakati nga amaliriza Siniya n'okuingila mu Yunivasitte (luwumula lwa siniya y'omukaaga), yaweebwa omulimu ku ttendekero lya Makerere University College of Engineering, Design, Art and Technology, mu puloojekitti yabwe eya "Makapads project".[6]

Ebirala eby'okumanya[kyusa | edit source]

Nambatya asomesa essomabuziba (Chemistry) ku ttendekolo lya Sayansi ow'obutonde n'essomamalagala ku Ttendekero lya Sayansi w'ebyobulamu, byombi ku Yunivasitte ye Makerere, Yunivasitte ya Gavumenti mu Uganda esinga obukulu n'obunene.[6]

Atuula ku boodi y'ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'amadaggala ekya National Drug Authority, okuva mu mwaka gwa 2008. Ye sentebe wa Public Private Partnership for Health (PPPH) Working Group. Mmemba wa ttiimu enzirukannyi ey'okuntikko muMinisitule ya Uganda ey'ebyobulamu, adamu eri Ssabawandiisi.[10]

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]