Grace Nambatya Kyeyune

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Grace Nambatya Kyeyune (née Grace Nambatya) (yazaalibwa mu Gwokuna 1962), Munayuganda munnassomabuziba mu by'eddagala (medicinal chemist), omunoonyerezi era muyivu, aweereza nga omukulembeze weby'okunoonyereza ku National Chemotherapeutic Research Institute (NCRI), esangibwa mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu.[1] Okusinziira ku mukutu gwa website, NCRI kitongole kya Gavumenti ''ekyeby'okunoonyereza nenkulakulana mubintu by'obutonde nenono n'ensengekera z'ebyobulamu(natural products and traditional and complementary health system)''.[2] Mu Gwomusanvu 2021, Nambatya is asiimibwa n'okutandikawo ebitooli bitaano, kati ebikozesebwa mu malwaliro g'obwananyini ne Gavumenti, ebijibbwa mu bimela n'amaddagala ga Uganda which are extracted from Ugandan plants and herbs.[1]

[1]

Ebimukwatako n'obuyigirize[kyusa | edit source]

Nambatya yazaalibwa mu Gwokuna 1962 eri Mary Perepetwa Sonko ne Charles Sonko abe Ssaza, mu Disitulikiti y'eMasaka , mu bitundu bya Buganda eya Uganda. Pulayimale yagisommera mu bitundu bya Masaka ebyamaanyi. Oluvannyuma yagenda ku Trinity College Nabbingo, kati eri mu Wakiso District, gyeyamaliriza emisomo jya O-Level ne A-Level.

Nambatya yayingizibwa mu Makerere University, eyo jyeyafunila Diguli ya Sayansi mu Byobuziba (Bachelor of Science degree in Chemistry), eyagobererwa Dipulooma mu Byenjigiriza (Postgraduate Diploma in Education). Oluvanyuma, yafuna Diguli y'oBukugu bwa Sayansi mu Busawo bwobuziba (Medicinal Chemistry), eyagobererwa diguli eya Doctor of Philosophy mu somo lyelimu, byombi bwamuweebwa Loughborough University mu United Kingdom.

Emirimu[kyusa | edit source]

Okutandika circa 2000, Nambatya abadde asoma nga bwa bwamanyisa eddagala lye kinaansi, nga bwakolagana n'entababuvo Z'omuyuganda, abasawo bekinansi n'abasawo mubugwanjuba. Asimibwa olwamaanyi geyateeka emabaga wa biilu ya "Indigenous and Complementary Medicine Bill of 2015".[3]

Okunoonyereza kwa Nambatya kusimibwa mu kuleeta ebitoolo ebwenjawulo ku katale mubiseera bya COVID-19 pandemic. Omuli bino:

UBV-01N

Enkola yeby'obutonde ebyatandikibwaawo Nambatya ne ttiimu ye ku. Okuva Mugwoluberyberye 2021 baligezesa ku bantu mu ddwaliro lye Mulago National Referral Hospital.[1][4]

Excel Sanitizer

Enkola eno elimuWarburgia ugandensis, elwanyisa bakkitiriya ne bufungi (antibacterial and antifungal).[1]

Warbugia Herbal Cough Syrup

Eriri mukukolebwa nga eggagala ly'ekifuba mu balwadde ba COVID-19 .[1]

NCRI Immuno Booster

Ekyokunwa ky'obulamu( organic drink) ekiri mukukolebwa okugumya amaanyi gomubirir okulwanisa endwadde ezireetebwa obuwuka bwa bakkitiriya,vayiraasi ne fungi mu byona ne ataaka ezamaanyi, mu bufunze.[1]

Famire[kyusa | edit source]

Grace Nambatya mufumbo eri Robert Kyeyune era wamu, bazadde ba baana bataano.

Ebirala eby'okumanya[kyusa | edit source]

Nambatya asomesa eby'obubuziba (Chemistry) ku Somero lya Sayansi W'ebitonde (College of Natural Sciences) n'essomamalagala (pharmacy) ku somero lya Sayansi w'obulamu (College of Health Sciences), byombi ku Makerere University, the oldest and largest Yunivasitte ya Gavumenti esinga obukadde n'obunene mu Uganda.

Atuula ne ku boodi ya National Drug Authority, okuva mu mwaka gwa 2008. Ye sentebbe wa Public Private Partnership for Health (PPPH) Working Group. Era memba wa Top Management Team ku Minisitule ye byobulamu eya Uganda , nga ddamu eri ssabawandiisi (Permanent Secretary).[1]

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebijulizidwaamu[kyusa | edit source]

Ebijulizidwaamu wabweru wa wikipediya[kyusa | edit source]