Jump to content

Barbara Nekesa Oundo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Barbara Nekesa Oundo yazaalibwa 6 Ogwomukaaga, 1984. Munnayuganda, munnabyabufuzi era Omukungu, akola ng'Ambasada wa Uganda mu South Africa, ekisangibwa e' Pretoria.[1] Mu buvunanyizibwa obwo, akiikirira Uganda mu South Africa, wamu n'amawanga agali mu Bukiikaddyo bwa Afirika aga Botswana, Namibia, Lesotho ne Swaziland.[2]

Yaweerezaako nga Minista omubeezi ow'ensonga z'e Karamoja mu Kabineeti ya Uganda. Yalondebwa mu kifo kino nga 27 Ogwokutaano 2011.[3] yadda mu bigere bya Janet Museveni, . Oundo Yawerezaako ng'omubaka omukyala owa Disitulikiti y'e Busia mu Paalamenti ya Uganda ey'omwenda okuva mu 2011 okutuusa mu 2016.[4]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazalibwa mu Disitulikiti y'e Busia mu Buvanjuba bwa Uganda nga 6 Ogwomukaaga 1984, maama we ye Mary Hadudu, maama w'abawala mwenda n'omulenzi omu; Edward Wabudi, Kansala w'okukyalo.[4] Yasomera ku Bubulo Girls School mu Mbale okuva ku siniya esooka paaka mu y'okuna (O-Level) ne Mbogo High School mu Kawempe gye yasooera siniya ey'okutaano ney'omukaaga (A-Level).[5] mu 2009, yatikirwa diguli ku Ssettendekero wa Makerere eya Bachelor of Human Resources Management.[4]

Mu 2011, Barbara yasobola okwesimbawo ku tikiti y'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM) ku kifo ky'omubaka omukyala owa Disitulikiti y'e Busia mu Paalamenti. Mu Gwokutaano 2011, yalondebwa okuba Minisita omubeezi ow'ensonga z'e Karamoja, ng'aloopa butereevu eri Janet Museveni, mukyala wa Pulezidenti wa Uganda era ng'ono yeyali Minisita w'ensonga z'e Karamoja.[4]

Mu kiseera kino ye muwanika wa National Resistance Movement (NRM) Amb.[6]

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2007, Nekesa yafumbirwa Charles Oundo, omukungu wa Uganda munsi ez'ebweru gweyali yasisinkana ng'akyasooma ku Ssettendekero wa Makerere era balina abaana babiri. mu 2011, yeesimbawo era nawangula akalulu k'omubaka omukyala owa Busia ngali ku kakonge ka National Resistance Movement (NRM). Mu Gwokutaano 2011, yalondebwa okubera Minista omubeezi ow'ensonga za karamoja ng'azilopela minista w'ensonga za karamoja ow'okuntiko Janet Museveni.[4]

Mu 2017, y'ayawukana ne bba Charles Oundo era mu Gwekkuminebiri 2018, yafumbirwa Hajji Suleiman Lumolo Mafabi, omusubuzi akolera e' Mbale, mu Buvanjuba bwa Uganda. Omukolo gw'ategekebwa mu maka gabwe e Muyenga okumpi n'ekibuga kya Uganda ekikulu Kampala.[7][8]

Okufirwa ebifo mu by'obufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Gwekkuminogumu 2015 mu kalulu k'okusunsula anakwatira NRM bendera mu kalulu ka boona, Oundo yafuna obululu 28,750 atte eyamudirira, Nina Irene Nekesa Wandera, yafuna obulului 25,443. Wandera yatwala okwemulugunya mu kakiiko k'ebyokulonda ng'agamba nti Oundo yawangula mu bukyamu.[9]

Mu kalulu k'okulonda ababaka mu 2016, Oundo yawangulwa Jane Nabulindo Kwoba, ng'ono y'esimbawo nga talina kibiina.[10][11] mu lukalala lwa baminista abaggya olwafulumizibwa ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga nga 6 Ogwomukaaga 2016, Oundo teyaliiko ku lukalala.[12]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-appoints-Dr-Kiyonga-Uganda-s-ambassador-Beijing/688334-3789164-l1e8sgz/index.html
  2. https://web.archive.org/web/20140629123210/http://www.ugandahighcommissionpretoria.com/
  3. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1010930/museveni-names-cabinet
  4. 1 2 3 4 5 https://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Barbara-Nekesa-Oundo/689842-1906046-5i6ffq/index.html
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2018-06-28. Retrieved 2024-02-03.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://www.nrm.ug/news/new-nrm-party-national-treasurer-amb-nekesa-ready-new-task
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2018-06-28. Retrieved 2024-02-03.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. https://mulengeranews.com/after-years-of-cohabiting-nrm-boss-lumolo-finally-weds-amb-barbra-nekesa-south-africa/
  9. https://chimpreports.com/minister-barbra-oundo-accused-of-gross-election-malpractice/
  10. https://web.archive.org/web/20170606032019/http://ugblizz.com/winners-and-losers-of-uganda-member-of-parliament-mps-elections/
  11. https://allafrica.com/stories/201602240463.html
  12. https://www.monitor.co.ug/News/National/New-Cabinet--Dropped-ministers-speak-out/688334-3237132-su0ai6/index.html