Jump to content

Ekibiina kya Democratic Party(Uganda)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Flag of Democratic Party of Uganda

 Template:Infobox political party   Ekibiina kya Democratic Party (mu Luswayili: Chama cha Kidemokrasia; DP kibiina ky'ebyobufuzi ekimaze ebbanga nga kikuuma ennono zaako mu Uganda nga kikulemberwa Norbert Mao. Ekibiina kya DP kyakulemberwa Paul Ssemogerere okumala emyaka 25 okutuusa lwe yawummula mu Gwekkuminogumu 2005. John Ssebaana Kizito yasikira Ssemogerere,[1] era n'akulembera DP okutuusa mu Gwokubiri 2010, Norbert Mao we yalondebwa okubeera Pulezidenti waakyo.[2]

Mu kulonda kwa bonna okwaliyo nga 18 Ogwokubiri 2011, ekibiina kya DP kyawangula ebifo by'ababaka ba Paalamenti 9 ku ebyo 529. Ku lunaku lwe lumu mu kalulu k'Obwapulezidenti, Mao yafuna obululu ebitundu 1.86 ku buli 100. Mu Gwomukaaga 2013, ekibiina kyalina ebifo kkumi na bitaano mu Paalamenti.

Ebikwata ku DP

[kyusa | edit source]

  Ekibiina kya DP kyatandikibwawo ku musingi gwa ddiini n'ebyenfuna ne kiba kya maanyi mu kutema empenda y'omuzannyo gw'ebyobufuzi mu Buganda nga Uganda tennaba kufuna bwetwaze. Buganda ly'ettundutundu erisinga obunene nga lirimu abantu ab'eggwanga erimu mu Uganda era ebadde mpagi luwaga mu byobufuzi bya Uganda okuva lwe yaweebwa obwetwaze okuva ku Bangereza. Nga bwe kyali ku bitundu ebirala mu Afrika, Buganda yayaniriza ebibinja by'abaminsane bisatu (3),- muno mwalimu Abakatoliki, Ab'ekkanisa ya Bungereza(Abakristaayo), n'Abasiraamu. Ebibinja bino byali ku mbiranye era byabbinkana nga buli kimu kirwana okufuna obuganze, abagoberezi bangi bakyegatteko mu Buganda ne Uganda ey'awamu. Mu Buganda, ebibinja bino byonsatule byafuna abagoberezi era ne bifuuka bya maanyi nga buli kimu kirwana okulaba nga kye kirina obuganzi eri Kabaka. Kyokka we bwatuukira mu myaka gya 1950, Abakristaayo/ Ekkanisa ya Uganda be baali bawangudde eky'okuba abasinga obuganzi eri Kabaka.

Obwakabaka bwa Buganda

[kyusa | edit source]

  Ensonga endala eyaliko kalumanywera ow'amaanyi mu Buganda kwe kuba nti obuvunaanyizibwa bwa Kabaka bwali bulina okuba era bulagibwe mu Uganda ey'awamu eyali eteekateeka okwefuga. Abantu abasinga obungi mu Buganda baali baagala ekitiibwa n'ekifo kya Kabaka bisigalewo nga yeemalirira era nga tewali mulala amukuba ku mukono. Kyokka abalala mu Uganda ey'awamu baali baagala Uganda efuulibwe eggwanga limu eryetongodde nga litambuzibwa ku nfuga ey'ekipooli (unitary modern state) ng'esikira ey'Obwakabaka obwenjawulo obwaliwo mu kusooka. Endowooza y'emu yali ewagirwa n'abamu ku Baganda naddala abaasoma naddala Abakatoliki. Baasima omusingi ogwavaako okutondebwawo kwa DP.

Eri Kabaka, aba DP bano yabalabanga abajeemu/ bakiwagi eri Obwakabaka era okubaanukula, Kabaka yatandikawo ekibiina ekyafuna obuwagizi obw'amaanyi n'okusinga ekya DP mu Buganda nga kino kyayitibwanga Kabaka Yekka. Bwe baakizuula nti emikisa gyabwe gyali mitono okuwangula mu Buganda, aba DP nga bakulemberwa Benedicto Kiwanuka baatandika okuyandayanda ne bakuyega obuwagizi mu bitundu bya Uganda ebirala ebya Uganda. DP yafuuka ekibiina ky'ebyobufuzi ekyasooka okubuna Uganda yonna.

Ameefuga ga Uganda

[kyusa | edit source]

  "Ekibiina ekyokusatu kyayingirawo nga kiva mu bantu ab'omu Bukiikakkono bwa Uganda naddala aboogera ennimi za ba Nilotic ne Luo.

Ebibiina bino byombi byali bikiikirira enzikiriza ez'enjawulo ezaali zikontana ennyo mu kiseera ekyo. DP yali ekiikirira Abakatoliki abaali balowooza nti baali basosoddwa okumala ekiseera okuva ku lutalo lw'e Mengo olwa 1892. UPC yo yali ewagirwa nnyo abantu abatali Baganda era abaalina obulumi olwa kye baayita okuba ng'Abaganda baali babuutikidde nnyo okuva mu 1600.

Uganda People's Congress (UPC), yali ekulemberwa Milton Obote. Nga bwe kyali ku Democratic Party, n'aba UPC baali bakuba kampeyini ey'okukola Gavumenti ey'ekipooli/ ey'okugatta ebitundu bya Uganda byonna awamu okukola Gavumenti ey'awamu era waaliwo enjawulo ntono nnyo wakati wa DP ne UPC.

Akalulu akaaliwo nga Uganda tennafuna bwetwaze kaalaga nti Democratic Party kye kyali ekibiina ekisinga obuwagizi kyokka UPC yabatebuka n'ekola omukago n'ekibiina kya Kabaka Yekka era okukkakkana nga Milton Obote y'afuuse Ssaabaminisita wa Uganda eyasookera ddala era n'asuubiza okukuuma ekitiibwa kya Kabaka mu Buganda. Kyokka omukago ogwo tegwamala kiseera kiwanvu era mu 1966, Obote yalagira amagye okulumba olubiri lwa Kabaka era eyali Pulezidenti mu kiseera kye kimu okukkakkana nga Muteesa awaŋŋangukidde e Bungereza. Ekibiina kya Kabaka Yekka kyawerebwa ne Benedicto Kiwanuka eyali akulira DP n'asibwa.

Ebyaddirira mu byobufuzi

[kyusa | edit source]

  Obote bwe yaggibwako Idi Amin mu 1971, Benedicto Kiwanuka yakkiriza okuweebwa obwaminisita mu Gavumenti empya. Kyokka ono oluvannyuma yattibwa basajja ba Amin. Amini yawera ebibiina by'ebyobufuzi byonna mu Uganda.

DP yazzibwawo ng'omulembe gwa Idi Amin gumaze okuggwaako bwe yaggibwako mu 1979.

Obutabaawo bw'ekibiina kya Kabaka Yekka bwafuula DP okubeera ekibiina ky'ebyobufuzi ekisinga amaanyi mu Buganda n'ebitundu by'obukiikaddyo bwa Uganda, ate aba UPC ne bongera okunyweza obuwagizi bwabwe mu Bukiikakkono bwa Uganda. Enkola eno yavaamu banna DP bangi mu bitundu bya Buganda abajja ku mmaapu olwa Gavumenti eyaliwo okulemererwa okukola ebintu bingi mu byobufuzi ne mu byenfuna. Banna enkola yaabwe ey'okukolokota Gavumenti yayongera okusajjuka olwa Gavumenti eyaliko okubeera n'amagye nga gasingamu bantu abava mu Bukiikakkono bwa Uganda.

Obukulembeze bwa DP tebwabanja ku bwetwaze bwa, Buganda wabula baasalawo bagende nakyo.

Mu 1980, Paul Ssemogerere yafuuka akulira DP. Mu 1984, yaddamu okulondebwa okubeera Pulezidenti wa DP wakati mu kuvuganyizibwa Tiberio Okeny Atwoma.[3] Oluvannyuma lwa Atwoma okuwangulwa, yasalawo okutandikawo ekibiina ekipya kye yatuuma Nationalist Liberal Party ng'ali wamu n'3yaliko Minisita, Anthony Ochaya, Cuthbert Joseph Obwangor, ne Francis Bwenge.[4] Ekibiina kino oluvannyuma kyagattibwa ku DP.

Paul Ssemogerere yafuuka munnabyabufuzi ow'amaanyi era ajjukirwa okuvuganya ennyo ne Obote eyali akomyewo ku bendera ya UPC mu kalulu ka 1980. Akalulu kano kigambibwa nti kabbibwa Gavumenti y'abajaasi eyakolebwa nga baakaggyako Amin nga bakabbira Obote n'ekibiina kye ekya UPC.

Ekibiina ekyokusatu ekya Uganda Patriotic Movement (UPM) ekyali kikulemberwa Yoweri Museveni, kyagaana okukkiriza ebyava mu kulonda kuno era ne kyesogga ensiko mu lutalo olw'ekiyeekera. Waaliwo abantu bangi abaali baagala DP egaane ebyali bivudde mu kulonda kuno kyokka obukulembeze bw'ekibiina bwasalawo okugumira ku bifo bya Paalamenti bye baali bafunye era newankubadde kyamalamu abawagizi amaaanyi, naye DP yagaana okuwakanya obuwanguzi bwa Obote. Kyokka omu ku bakulembeze ba DP eyali omuvubuka embulakalevu, Andrew Kayiira, ye yasalawo n'ayingira olutalo lw'ekiyeekera okuvuunika Gavumenti ya Obote, bwe yeegatta ku kabinja k'abayeekera akaayitibwanga Uganda Freedom Movement.

Museveni bwe yajja mu buyinza, yawangula obuwagizi mu Buganda bwe yazzaawo Obwakabaka obwali buggiddwawo Obote era n'akkiriza n'Omulangira Ronald Muwenda Mutebi II okudda mu Uganda n'atuuzibwa ku Nnamulondo ya bajjajja be/n'afuuka Kabaka. DP yakola bubi nnyo mu kalulu ka 2006, era kaaleetawo okubuusabuusa oba nga DP enadda engulu n'efuna obuganzi nga bwe yalina mu Buganda.

Nga 13 Ogwomunaana 2020, ababaka ba DP 16 aba Palamenti beegatta ku kibiina kya NUP olwo DP n'esigaza ababaka bana (4) bokka.

Okwesalamu kwa DP

[kyusa | edit source]

Okuva mu kulonda kwa 2006, DP esanze obuzibu okuddamu okufuna abawagizi abawera mu byobufuzi bya Uganda. Enjawukana n'okwesalamu obukundi mu DP kugiggyeeko abawagizi baayo bangi.

Ebyafaayo by'okulonda mu DP

[kyusa | edit source]

Okulonda kwa Pulzidenti okuzze kubaawo

[kyusa | edit source]
Okulonda Kandideeti w'ekibiina obululu % Ebyavaamu
2006 John Ssebaana Kizito 109,583 1.58% Yawangulwa N
2011 Norbert Mao 147,917 1.86% Yawangulwa N
2016 Teyakwetabaamu
2021 Norbert Mao 55,665 0.56% Yawangulwa N

Okulonda kwa Paalamenti ya Uganda

[kyusa | edit source]
Okulonda Obululu % Ekifo +/– Position
1958 140,740 26.3% Template:Composition bar 1 2nd
1961 436,420 42.5% Template:Composition bar 42 2nd
1962 484,324 46.1% Template:Composition bar 19 2nd
1980 1,966,244 47.1% Template:Composition bar 26 1st
2006 Template:Composition bar 42 4th
2011 Constituency 476,415 6.04% Template:Composition bar 4 3rd
Women 325,660 4.41%
2016 Constituency 349,962 4.34% Template:Composition bar 3 3rd
Women 246,284 3.38%
2021 Constituency 244,194 2.44% Template:Composition bar 6 4th
Women 172,364 1.70%

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]

Obutabo bwe yawandiika

[kyusa | edit source]
  • Apter, D.E. "The Political Kingdom in Uganda," Princeton. University Press, Princeton, New Jersey, 1961
  • Gray, J.M. (1950) "The Year of the three Kings," Uganda Journal, March, 1950.
  • Hansen, H B (1984) Mission, Church and State in a Colonial Setting, 1890-1925" Heinmann, Nairobi & London, 1984.
  • Lockard, K. ( 1980) 'Religion and Politics in independent Uganda: the movement toward secularization", in Scaritt, J.R. (editor) "Analysing Political Change in Africa," Colorado (USA), Westview Press.
  • Lockard, K. 'Religion and Political Development in Uganda, 1962-1972, (unpublished PhD. dissertation, University of Wisconsin 1974) (A microfilm copy of this thesis is available in the University of Nairobi Library).
  • Low, D.A. "Political Parties in Uganda, 1949-62," London, Athlone Press (1962); also in Low, D.A. "Buganda in Modern History,"Berkeley & Los Angeles, University of California Press, 1967.
  • Mutibwa, P.M. "Internal Self-Government: March 1961 to October 1962," in Uzoigwe, G.N. (editor) "Uganda: the Dilemma of Nationhood," New York & London: NOK Publishers, 1982.
  • Obote, A.M. "Notes on Concealment of Genocide in Uganda," Lusaka, Zambia.
  • Rowe, John (1969) 'Lugard at Kampala; Makerere History Papers Kampala, Longmans.
  • Santhymurthy, T.V., "The Political Development of Uganda: 1900-1986,"Aldershot, Hants, England: Gowers Publishing Company, 1986.
  • Twaddle, M. (J 972) "The Muslim Revolution in Buganda" African Affairs Volume 77
  • Twaddle, M (1988) "The emergence of politico-religious groupings in late 19th century Buganda," Journal of African History Volume 29.
  • Wright, M. (1971) "Buganda in a Heroic Age," Oxford University Press, Nairobi, 1971
  • Adhola, Yoga: "The Roots of the Democratic Party," found at http://www.upcparty.net/memboard/2012/rootsofparty.pdf Also see The Monitor at http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/ugandaat50/-/1370466/1377422/-/ujiydez/-/index.html continued at http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/ugandaat50/-/1370466/1382168/-/uj0yblz/-/index.html

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]