Jump to content

Jacqueline Mbabazi

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Jacqueline Susan Ruhindi Mbabazi (yazaalibwa 18 Gw'omunaana 1954) Munnayuganda omusomesa, munna by'abufuzi era munnabizineni. Ye mukyala wa Ssabaminisita wa Uganda eyavaako, Amama Mbabazi. Aweereza nga Ssentebe weekibiina ky'abakyala mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM), ekibiina ekifuga eggwanga.[1]

Ebyafaayo bye

[kyusa | edit source]

Yewookuna ku baana kkumi noomu, yazaalibwa mu Disitulikiti y'eRukungiri nga18 mu Gw'omunaana,1954 era muwala wa Canon Gereshomu ne Evalina Ruhindi.[2]

Okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Jacqueline Mbabazi yasomera ppulayimale ye ku masomero agawerako mu Disitulikiti y'eKabale, kitaawe gyeyali aweerereza mu Kkanisa ya Uganda.Yasomera ku Bweranyangi Girls' Senior Secondary School erisangibwa mu Disitulikiti y'eBushenyi gyeyatuulira siniya ey'okuna.Yadda ku Trinity College Nabbingo gyeyatuulira eby'ekyomukaaga. Mu 1973, yayingira Makerere University, nga ye Yunivaasite ya gavumenti esinga obunene noobukulu mu ggwanga, Yatikkirwa ne Diguli mu ssomo lya Science (BSc) mu 1976 era yamala naafuna ne Dipuloma mu Busomesa. Mu ntandikwa y'emyaka gya 1980 yeeyongerayo n'emisomo gye era yagenda e Sweden gyeyasomera Dipuloma mu Lulimi lwayo, wamu ne Diguli ya Master of Sciences (MSc) mu bya Biotechnology. Oluvannyuma yafuna Dipuloma mu bya International Management e Sigtuna, mu Sweden.

Okukola kwe

[kyusa | edit source]

Y'omu ku Bannayuganda abakugu abaatandikawo ekitongole kya Uganda Revenue Authority (URA) mu1992. Mu URA, yasookera mu kifo ky'omuyambi wa Kkomiisona mu nsonga zookugereka nookutereka omusolo. Oluvannyuma yafuuka Kkomiisona yennyini mu nsonga eyo. Mu 1999, yalekulira URA era ye naabalala nebatandika Ekitongole ky'ebyenkulaakulana eky'obwannayini okuyamba abavubuka n'abakyala. Yaweererezaamu nga omutwe era nga akulira abatendesi. Oluvannyuma lw'emyaka 3 mu kifo ekyo, yakolako nga Omukulu mu kuddukanya emirimu mu kkampuni ya Luweero Industries Limited, eyali eya gavumenti. Yalekulira emirimu gya gavumenti oluvannyuma.[3]

Nga 8 Ogwekkumuneebiri gwa 2017, Mbabazi yalondebwa nga Ssentebe ku lukiiko oluddukanya Uganda Microfinance Regulatory Authority.[4]

Ebimukwatako

[kyusa | edit source]

Mufumbo eri eyaliko Ssabamimisita wa Uganda, Amama Mbabazi, era balina abaana 6 naanazzukulu 11.[5] Jacqueline Mbabazi mukugu mu nnimi omuli Runyakitara, English ne Swedish.[6]

Obuvunaanyizibwa obulala

[kyusa | edit source]

Oluvannyuma lw'okulekulira emirimu gya gavumenti, kati akola mu kitongole kya byankulaakulana ya ggwanga. Akolera ne mu kibiina kya National Women's League ekiri mu kibiina kya National Resistance Movement ekikulira eggwanga,nga ye Ssentebe wakyo. era yoomu ku bakulembeze mu Kkanisa ya Uganda.[7]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. http://www.monitor.co.ug/News/National/Mbabazi-s-wife-fires-back-at-NRM/-/%20688334/2236304/-/ou9eyo/-/index.html
  2. https://www.monitor.co.ug/News/National/Mbabazi-s-father-in-law-Rev-Canon-Gershom-Ruhindi-dies-103/688334-4623484-10et0fez/index.html
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2023-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2023-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2015-09-23. Retrieved 2023-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2023-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2017-12-01. Retrieved 2023-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Linki endala

[kyusa | edit source]