Josephine Karungi
Josephine Karungi, munnayuganda ow'ebyamawulire akola ng'omukugu mu byempuliziganya eyebuzibwako n'ekitongole ekya Bbanka ey'ensi yonna nga ofiisi zakyo zisangibwa mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Nga kino tekinnabaawo, okuva nga 1 Ogwekkumi 2018 okutuuka nga 30 Ogwokusatu 2021, yaweerezako ng'akulira amawulire ku NTV Uganda, mu kiseera ekyo. yaweereznga butereevu eri avunaanyizibwa ku mawulire Daniel Kalinaki.
Karungi yazaalibwa mu Uganda. Yasomera mu Nakasero Primary School, e Kampala. Oluvannyuma yagenda mu St. Lawrence Citizens High school, Horizon Campus okusoma Sekendule. Oluvannyuma yaweebwa ekifo mu Yunivasite ya Makerere, yunivasite y'eggwanga esinga obunene mu Uganda, mu Kampala, gye yamaliriza ne diguli esooka mu by'amawulire.
Emirimu
[kyusa | edit source]Yegatta ku National Television Uganda (NTV Uganda) mu 2009 ng'omusomi w'amawulire ag'oluzungu. Yateeekateekanga era n'aflulumya pulogulamu y'oku ttivi eyitibwa Perspective With Josephine Karungi. Mu Ogwekkumi 2018, yafuulibwa okukulira amawulire ku NTV Uganda, ng'adda mu kifo kya Maurice Mugisha, eyatwalibwa ekitongole ekya Uganda Broadcasting Corporation, ng'amyuuka avunaanyizibwa ku ntambuza y'emirimu mu kitongole ekyo. Oluvannyuma yalondebwa ng'akulira eby'empuliziganya mu kitongole ekya Bbanka ey'ensi yonna nga tanava ku Nation Media Group.
Mu Ogw'okusatu 2021, yafulibwa akulira amawulire ku NTV Uganda.
Amaka
[kyusa | edit source]Karungi yafumbirwa Vince Musisi, munayuganda era pulodyuusa w'ennyimba. Bombi baalina omukolo ogw'ekyama ennyo nga gwali mu Speke Resort Munyonyo, amambuka g'ennnyanja Victoria. Abafumbobano balina ezadde ery'omwana ow'obulenzi.
Ebirala bye balowoozaako
[kyusa | edit source]Mu Ogusooka 2017, olupapula lw'amawulire olwa Daily Monitor lwamwogerakonga, omu ku "bantu abayinza okuba abasikiriza mu Uganda mu 2017".