Jump to content

Margaret Lamwaka Odwar

Bisangiddwa ku Wikipedia

Margaret Lamwaka Odwar (née Margaret Lamwaka ), era Margaret Odwar, (yazaalibwa 23 Ogw'ekkumi n'ebiri 1969), munnabyabufuzi mu Uganda akola nga omubaka wa Palamenti ali mu ntebe ng'akiikirira ekitundu ky'abakyala mu Disitulikiti y'e Kitgum mu Palamenti ya Uganda ey'ekkumi (2016 okutuuka 2021).

Gyenvudde n'Okusoma[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Kitgum, mu kitundu kya Acholi, mu kitundu ky’omumambuka ga Uganda, nga 23 Ogw'ekkumi n'ebiri 1969. Satifikeeti eya pulayimale yagifuna okuva u ssomero lya Koch Goma Central Primary School. Mu 1986, yafuna satifikeeti ye eya O-Level okuva mu Wanyange Girls’ Secondary School, mu Disitulikiti y’e Jinja .

Yagenda mu maaso n’afuna, okuva mu Alero Primary Teachers College ne Dipuloma mu by’enjigiriza ebya pulayimale, okuva mu National Teachers College, Unyama.

Mu 2006, yaweebwa diguli esooka ey'obusomesa, oluvannyuma lw’emyaka esatu n’aweebwa diguli ey'okubiri mu by'obusomesa okuteekerateekra n'okubuddukanya, zombi okuva mu Uganda Christian University, e Mukono .

Emirimu nga tanagenda mu by'obufuzi[kyusa | edit source]

Okuva mu 1989 okutuuka mu 2015, Margaret Lamwaka yasomesa mu masomero ga pulayimale mu bitundu bya Uganda eby'enjawulo. Ye yatandika ng’omusomesa owa guleedi ey'okusatu mu ssomero lya Gulu Public Primary School, mu 1989, n’alinnya ku guleedi 1 era n’afuuka omukulu w’essomero lya Pandwong Primary School, mu 2015.

Omulimu gw’eby'obufuzi[kyusa | edit source]

Mu 2016, Margaret Lamwaka yavuganya ku ky’omubaka omukyala mu Disitulikiti y’e Kitgum, ku tikiti y’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Resistance Movement ekiri mu buyinza. Yawangula era ye mubaka wa Palamenti ali mu ntebe y’abakyala mu Disitulikiti y’e Kitgum.

Mu palamenti ey’ekkumi, mmemba ku bukiiko bwa palamenti bubiri; (a) akakiiko akakola ku mateeka, enkizo n’empisa ne (b) akakiiko akakola ku by’enjigiriza n’emizannyo.

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]