Jump to content

Maroons FC

Bisangiddwa ku Wikipedia

Maroons FC, nga n'olumu bagiyitwa Prisons FC, Kiraabu y'omupiira eyateeka abasambu ku musaala ng'esibuka mu Kampala, ng'edukanyizibwa ekitongole kya Uganda ekivinaanyizibwa ku by'amakomera, ensangi zino ezannyira mu kibinja kya Uganda. Ng'ezannya nga Prisons FC, kiraabu eno yawangula ebikopo ebiri ebya liigi ya Uganda eyababinyeera mu 1968 ne 1969[1][2] era nebatuuka ku luzannya olw'okubiri oludirira olw'akamalirizo mu 1970 mu mpaka eziwakanirwa kiraabu okuva kulukalo lwa Afrika, nga baakubwa Ismaily ey'e Misiri 6–2 ku mugate gwa ggoolo.[3][4]

Ebigikwatako

[kyusa | edit source]

Prisons FC yawangula ebikopo eby'emirundi ebbiri ebya liigi ya Uganda eyababinyweera mu 1968 mu 1969, ng'era yeeyali ttiimu eyasooka okukiikirira Uganda mu mpaka z'ensi yonna mu 1970 mu mpaka ezivuganyizibwaamu Kiraabu okuva kulukalo lwa Afrika, ttiimu ya Uganda eyitibwa Bitumastic, yakiika mu 1967, wabula nebazivaamu nga tebanaba kusamba mupira nagumu.[5]

Kiraabu eno yasembegerera mu myaka gye 1980 era nebasalibwaako okuddayo wansi mu kibinja kyabanamba lugyega mu 1987.[6]

Beebaali bakyampiyoni b'ekibinja kya Uganda eky'omupiira eky'okubiri, ekimannyikiddwa nga Ugandan Big League, tnga emirundi esatu baali basumusibwa mu myaka gya 2010 okugenda okuzannya mu Kibinja kya Uganda ekyababinyweera buli kiseera, nga muno mwemuli ne sizoni z'omupiira eza 2015/2016 ne 2017/2018.[7][8][9]

Maroons yasalibwaako neera okuddayo mu biseera bya sizoni ya 2020 oluvannyuma lw'ekibiina ekidukanya omuzannyo gw'omupiira mu Uganda okuyimiriza sizoni eno mubunaambiro oluvannyuma lw'emipiira 25, wabula oluvannyuma nebasumuzibwa mu 2022.[10]

Mu 2006, Kiraabu ya Maroons ey'omupiira gw'ebigere n'etuuka ku mupiira ogwaali ogw'akamalirizo ez'empaka za Kampala Zonal Mini League. Ttiimu eno yali wansi w'obutandesi bwa Morley Bwekwaso ne Ntege Patrick, nga ensangi zino ne maneja wa ttiimu y'eggwanga lya Uganda.Wadde nga baali beetegeka okumala emyezi n'okulakulanya ebitone by'abazannyi, Maroons eby'embi baalemererwa okugenda mu bibinja era nebatagenda mu laawundi eddako. Oluvannyuma lw'empaka za Zonal Mini League, Asaph Mwebaze mu bwangu ddala yadda mu kifo ky'okubeera omutendesi omukulu mu biseera by'empaka z'ebitongole z'eby'okwerinda. Prisons yakomekerera nga emalidde ng'ekutte kifo kyakubiri mu mpaka zino oluvannyuma lw'okubeera nga baazannya beetaba bulungi mu mizannyo gino.

Oluvannyuma lw'omwaka, Asaph Mwebaze yakungaanya ttiimu y'abavubuka eyalina ekiruubirirwa ng'eva mu baalakisi y'e Luzira.Ttiimu eno yali erinamu abazannyi abaali bakola ennyo, abalina ebirubirirwa era nga bafiirawo, abaafuna obuwagizi okuva mu bawagizi abaali beeyongeramu amaanyi. Baali baagwala nnyo abantu b'omukitundu ng'era batwalibwa okubeera nga baali baleese nkyuka kyuka, era nebakitukiriza webatuuka nga bawanguzi.[11]

Omwaka 2007 bakola ebyafaayo mu kiraabu eno, Maroons bweyakomezebwaako mu kibinja kya Uganda ekyababinywera oluvannyuma lw'emyaka 23 webaali baava mu kibinja ekyawagulu mu mupiira. Obuwanguzi buno bwakakasibwa oluvannyuma lwa Maroons okubeera nga baakuba Mutundwe Lions, kiraabu edukanyizibwa pulezidenti w'ekibiina ekivunaanyizibwa ku muzannyo gw'omupiira mu Uganda Ying. Moses Magogo, mu fayinolo za Kampala Zonal Mini League ezaali ku kisaawe ky'e Nakivubo. Wansi w'omutendesi wa Asaph Mwebaze, ng'ekulemberwa kapiteeni wa Cemari James, Maroons baayolesa omutindo ogwaali gubasubirwamu era nebasumusibwa okugenda mu kibinja kyawagulu.[11]

Ekisaawe

[kyusa | edit source]

Kiraabu eno ensangi zino emipiira gyayo egikyaliza ku kusaawe ekisinganiba mu Komera ly'e Luzira, nga kituuza abawagizi abasoba 5000 nga kisinganibwa munda mu kometra ly'e Luzira. Ewa kiraabu efunamu nnyo okuva mu bawagizi olw'okubeera n'obuwagizi n'okubeera nga kitukikako bulungi. Ekisaawe ekisinganibwa mu Komera ly'e Luzira kiwa abawagizi ebeetu ly'okumanyagana wamu n'okwenyigiramu by'okuwagira, eky'ongera ku muzannyo gw'omupiira. Okusalawo kwa kiraabu eno okukyaliza emipiira mu kisaawe ky'e komera kiwa abasibe ebeetu ly'okubeera nga beenyigira, eky'ogenra okukuuma abantu b'omu kitundu wamu n'okwenyigiramu.[11]

Ebibalo ne likodi

[kyusa | edit source]
EBIVUDDE MU MIPIIRA GYA MAROONS FC [12]
01.11.23 16:00 Airtel Kitara 0:1 Maroons FC Baawangula
27.10.23 14:00 Maroons FC 1:1 Uganda Revenue Authority Baalemagana
20.10.23 16:00 Bul FC 3:0 Maroons FC Baabakuba
03.10.23 18:30 KCCA FC 1:2 Maroons FC Baawangula
24.09.23 15:00 Maroons FC 1:1 SC Villa JOGOO Baalemagana
17.09.23 15:00 Wakiso Giants FC 0:3 Maroons FC Baawangula
27.05.23 15:00 Maroons FC 0:0 Bul FC Baalemagana
19.05.23 16:00 Express Football Club 2:0 Maroons FC Baabakuba
16.05.23 16:00 Maroons FC 1:0 Onduparaka FC Baawangula
09.05.23 16:00 Gaddafi 0:0 Maroons FC Baalemagana
03.05.23 16:00 Maroons FC 1:0 SC Villa JOGOO Baawangula
29.04.23 14:00 Uganda Revenue Authority 2:3 Maroons FC Baawangula
25.04.23 16:00 Maroons FC 1:0 UPDF FC Baawangula
18.04.23 16:00 Blacks Power 1:0 Maroons FC Baabakuba
05.04.23 16:00 Maroons FC 2:2 Vipers SC Baalemagana
01.04.23 16:00 KCCA FC 1:1 Maroons FC Baalemagana
21.03.23 16:00 Maroons FC 2:0 Arua Hill Baawangula
03.03.23 16:00 Wakiso Giants FC 1:2 Maroons FC Baawangula
24.02.23 16:00 Maroons FC 0:0 Bright Stars FC Baalemagana
09.02.23 16:00 Busoga United 0:1 Maroons FC Baawangula

Byebawangudde

[kyusa | edit source]

Engeri gyebaali bakolamu mu mpaka ezitegekebwa ekibiina ekidukanya omuzannyo gw'omupiira ku lukalo lwa Afrika

[kyusa | edit source]

Ttiimu eriwo ensangi zino

[kyusa | edit source]

This is the current squad of 2023.[11]Template:Fs start Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs player Template:Fs end

Abakazi abatali bazannyi

[kyusa | edit source]

Abali ku ttiimu y'eby'ekikugu[11]

[kyusa | edit source]

Ekifo Erinya

Laba nebino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | edit source]

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | edit source]