Philemon Mateke
Philemon Mateke (yazaalibwa mu 1933), munna byabufuzi mu Uganda. Ye Minisita omubeezi ow'ensonga z'ebitundu ku kabineeti ya Uganda. Yalondebwa ku kifo ekyo nga 1 Ogwokusatu 2015, naddira Asuman Kiyingi mu bigere, eyali alondeddwa nga Minisita omubeezi ow'ebyenguudo.[1] Olwekifo kyalimu nga Minisita, atwalibwa ng'omubaka wa Paalament. Era ye mukulu wa Metropolitan International University, Kisoro eyasooka era aliko.
Obuto bwe
[kyusa | edit source]Yazaalibwa mu Distulikiti ye Kisoro, Mubugwanjuba bwa Uganda, nga mu 1933. Primary yagisomera mu masomero g'okukitundu kyewaabwe, gyeyava ne yeegatta ku Kigezi College Butobere, gye yamalira siniya ey'okuna. Yageenda ku Busoga College Mwiri, gyeyatuulira S.6. Yaweebwa ekifo ku Makerere University, gyeyafunira diguli eya Bachelor of Arts, Master of Arts okuva e India ne Doctor of Philosophy okuva ku University of London. Yakuguka nnyo mu Byafaayo.[2]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Okusiinzira ku kusoma kwe e Makerere, Mateke yali Kakensa mu ssomo ly'ebyafaayo ku Makerere University okuva mu nkomerero y'emyaka gya 1960 okutuuka mu nkomerero y'emyaka gya 1970. Mu biseera bya Obote II, okuva 1980 okutuuka 1985, yaweereza nga Minisita Omubeezi ow'Ebyenjigiriza. Eyali memba wa Uganda People's Congress, y'egatta ku, National Resistance Movement (NRM) omwaka gwa 1986 nga tegunnatuuka, amangu ddala NRM yatwala obuyiinza. Yaweereza mu lukiiko lwa National Resistance Council, eyali Paalamenti ebiseera ebyo, okuva mu 1989 okutuuka 1996. Mu kulonda kwa 1996 ye yakulira akakiiko ka Elect Museveni Task Force. Yaweereza nga memba wa Parliamentary Commission oluvannyuma, yaweereza nga Minisita omubeezi ow'enkolagana y'abakozi n'amakolero 1998–2001. Mu kulonda kwa 2001, yaloondebwa nga tavuganyiziddwa mu kifo kya Ssentebe wa Kisoro District Council (LC5). Mu 2011, ku nkomerero y'ekisanja kye eky'emyaka 5, yawummula, okutuusa lwe yalondebwa nga Minisita Omubezi ow'ensonga Z'ebitundu nga 1 Ogwokusatu 2015.[2] Okulondebwa kwe kwakakasibwa Paalamenti olwokusatu 18 ogwokusatu 2015.[3] Mateke yateekebwawo nga Omukulu wa Metropolitan International University eyasooka mu Gwokubiri 2019.
Laba na bino
[kyusa | edit source]- Cabinet of Uganda
- Parliament of Uganda
- Government of Uganda
- African Union
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2017-07-09. Retrieved 2024-09-02.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 2.0 2.1 "Archive copy". Archived from the original on 2018-12-25. Retrieved 2024-09-02.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) Cite error: Invalid<ref>
tag; name "Who" defined multiple times with different content - ↑ http://ugandaradionetwork.com/a/story.php?s=72087