Jump to content

Rebecca Mpagi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Brigadier Rebecca Mpagi, munayuganda ofiisa w'amajjye era Omunonooza adaabiriza enyonyi, aweereza nga Direkita w'abantu n'okubyokudakanya mu UPDF Air Force.[1] Aweebwa obubonero nga omukyaala asookedde ddala mu Uganda okuba n'ebisaanyizo by'omunonooza adaabiriza enyonyi z'amajjye (military aircraft maintenance engineer).[2][3]

Ebimukwatako n'emisomo

[kyusa | edit source]

Mpagi yazaalibwa mu Kitundu bya Buganda ekya Uganda circa 1956, eri Yunia Nakibuuka Mpagi ne Charles William Mpagi. Ye yali owe kumineemu mu baana kumi na bana. Yasomera ku Kasanje Primary School nga tanakyuusa kudda ku somero lya Jungo Junior School, mu Disitulikitti y'eWakiso, eyo gyeyamalira emisomo gye ejya pulayimale.[2]

O-Level yagisomera ku Nabisunsa Girls' Secondary School . Oluvanyuma n'amaliriza emisomo jya A-Level ku somero lya Kololo High School, eyo gyeyafunira Dipulloma ya High School Diploma, mu mwaka gwa 1974.[2]

Yasomera ku Kianda Secretarial College, Nairobi, natikibwa ne dipulooma ya Diploma in Secretarial Studies. Mu mwaka gwa 1978, yayingizibwa mu somero ely'enyonyi mu East Africa elya East African Civil Aviation Academy mu Soroti, natikibwa nga Omunonooza adaabiriza Enyonyi (Aircraft Maintenance Engineer), mu mwaka gwa 1982. Asomye kkoosi z'amajjye eziwerako era nomukutendekebwa mu kubuulirila abantu (guidance and counselling).[2]

Mu mwaka gwa 2019, Mpagi yatikibwa n'ebitiibwa bya diguli ya Doctor of Divinity okuva Zoe Life Theological Collège, esangibwa mu Collingdale, Pennsylvania, United States.[4]

Emirimu

[kyusa | edit source]

Omulimu gwe ogwasooka yali muwandiisi ku yafeesi ya banamateeka mu kubuga ky'omuBuvanjuba bwa Uganda eky'eMbale. Naye, munnamateeka eyamuwa omulimu yattibwa mubiseera by'olutalo lwa Uganda–Tanzania War (Mu mweezi Gwekumi mu mwaaka gwa 1978 okutuusa mu mweezi Gwomukaaga mu mwaaka gwa1979), olw'ajyako Idi Amin mubuyinza. Awo wey'ewaandiisiza mu somero ly'enyonyi.[2]

Yeegata ku kibiina kya National Resistance Army mu mwaaka gwa 1986. Nga amaliriza okutendekebwa, Yakula ngayeyongerako mu madaala, okuva ku Second Lieutenant (1988), Lieutenant (1990), Captain (1999), Major (2002) ne Lieutenant Colonel (2008). Mu Gwomukaaga 2012, ye yali Direkitta w'ensonga z'abakyaala ku kittebe ky'ensonga z'abakyaala (Directorate of Women's Affairs) ku kittebe kya UPDF ekikulu, e'Mbuya, ekifo ekisangibwa mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekisinga obukulu n'obunene.[2] Okuva olwo, alinyisibwa kudaala lya Colonel omujjuvu era nalondebwa nga Direkitta w'abantu n'ebyokudukanya (Director of Personnel and Administration) ku UPDF Air Force, esangibwa Entebbe.[1]

Nga 28 Ogwokusattu 2020, yalinyisibwa okuva mu lanka ya Colonel okutuuka kweyo eya Brigadier.[5]

Famire

[kyusa | edit source]

Mpagi maama w'abawala bana.[2]

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebijulizidwaamu

[kyusa | edit source]

Ebijulizidwaamu wabweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]