Jump to content

Sarah Kataike

Bisangiddwa ku Wikipedia
Kataike Sarah Ndoboli

Sarah Ndoboli Kataike munnabyabufuzi wa Uganda. Mu kiseera kino ye minisita omubeezi owa Luweero Triangle, mu Kabineeti ya Uganda. Yalondebwa mu kifo ekyo nga 25 Ogusooka 2013. Nga kino tekinnabaawo, okuva nga 15 Ogwokuna 2012 okutuuka nga 25 Ogwomusanvu 2013, yaweereza nga Minisita omubeezi ow'eby'obulamu mu ggwanga. Yadda mu bigere bya Richard Nduhura, eyalondebwa okuba omubaka wa Uganda mu kibiina ky'amawanga amagatte. Era ye mubaka omulonde mu lukiiko lw'eggwanga ow'abakyala bomu disitulikiti eye Budaka ku kaadi ey'ekibiina ekya National Resistance Movement (NRM).

Ebyafaayo n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu disitulikiti eye Budaka nga 21 Ogusooka 1961. Alina obuyigirize obuwerako mu by'obulimi. Mu 1980, ng'aweza emyaka 19, yamaliriza emisomo gye mu Bukalasa Agricultural College ne Satifikeeti mu by'obulimi. Oluvannyuma lw'okutendekebwa, Bukalasa yamuwa Dipulooma mu by'obulimi mu 1985. Mu 1989, yafuna dipulooma mu Rural Integrated Development mu Cameroon.

Mu 1996, yaweebwa ekifo mu Yunivasite eye Makerere, yunivasite y'eggwanga esinga obukadde okusoma eby'obulimi. Yattikirwa mu 1999 ng'alina diguli esooka mu Science in Agriculture. Yeyongera okusoma mu Makerere era mu 2003, yaweebwa diguli ey'okubiri mu Science in Agricultural Extension and Education. Oluvannyuma, mu 2010, yafuna Postgraduate Diploma in Organizational Development and Management, okuva mu Uganda Management Institute.

Emirimu

[kyusa | edit source]

Omulimu gwe ogw'ekiseera ekiwanvu gwatandika mu 1980, bwe yakolanga ng'akulira faamu, n'aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1985. Wakati wa 1990 ne 1992, yaweerezako ng'omukwanaganya wa pulojekiti y'enva endiirwa mu kitundu mu disitulikiti y'e Budaka. Okuva mu 1992 okutuuka mu 1994, yaweereza ng'omukugu mupulojekiti y'ekitongole ekikuza obutiko mu disitulikiti eye Iganga.

Wakati wa 1994 ne 2000, yaweereza ng'akulira eby'obulimi ku disitulikiti eye Mukono. Okuva mu 2002 okutuuka mu 2004, yaweereza nga Senkulu w'ekitongole ekya The Hunger Project mu ggwanga. Okuva mu 2004 okutuuka mu 2006, yaweereza ng'akulira enteekateeka z'ebitongole eby'obwannakyewa bibiri eby'enjawulo, ng'akola ku kukendeeza obwavu n'enjala mu Afirika. Mu 2007 ne 2008, yaweereza nga Ssentebe wa kakiiko akagaba emirimu mu disitulikiti eye Budaka. Okuva mu 2008 okutuuka mu 2010, yaweereza ng'omukugu mu World Bank Reintegration Specialist mu Uganda Amnesty Commission.

Mu 2011, yayingira eby'obufuzi bweyesimba ku kifo ky'akiikirira abakyala mu disitulikiti y'e Budaka. Yagyira ku tiketi y'ekibiina ky'eby'obufuzi ekya National Resistance Movement (NRM) era n'awangula. Oluvannyuma yalondebwa okukiikirira Uganda mu Palamenti ya Pan African (PAP) eyali mu South Africa. Mu PAP yalondebwa okubeera Sssentebe w;akabondo ak'abakyala era bw'atyo n'afuuka memba wa Cafe, ekitongole ekikulembera Palamenti ya Pan African. Ye mufuzi w'ekiseera kino. Mu nkyukakyuka y'olukiiko olwaba minisita nga 15 Ogwomunaana 2012, yalondebwa nga Minisita omubeezi ow'eby'obulamu (General Duties) era okuva olwo yalina okulekulira okuva mu Palamenti ya Pan African kubanga yali afuuse omukulembeze ku kakiiko akafuzi okuweereza eggwanga lye butereevu. Mu nkyukakyuka z'akakiiko k'aba minisita aka kabineti akaliwo nga1 Ogwekkumi 2015, yasigaza ekifo kye n'okutuusa kati.

Ebikwata ku bulamu bwe

[kyusa | edit source]

Sarah Ndoboli Kataike si mufumbo. Agoberera enzikiriza eya Anglican.

Obuvunaanyizibwa obulala

[kyusa | edit source]

Alina obuvunaanyizibwa obulala mu palamenti: (a)mmemba ku kakiiko ak'eby'obulimi,ebisolo n'eby'enyanja (b) Mmemba ku kakiiko akateekerateekera eggwanga, (c) Mmemba ku kakiiko Rural Economy, Agriculture, Natural Resources and Environment and (d) Chairman's Women's Caucus.

Laba era

[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa

[kyusa | edit source]

Enkolagana ez'ebweru

[kyusa | edit source]