Shamim Malende

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Shamim Malende yazaalibwa mu 1980), nga looya omunayuganda, kamisona w'ebirayiro, akola kunsonga z'abantu ezitali zimu, munabyabufuzi n'omulwanirizi w'eddembe ly'abantu mu bitundu.Y'omu ku bali mu kisinde kya People Power, Our Power ne mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Unity Platform (NUP). Ye mukazi yekka ali ku ttiimu ya Robert Kyagulanyi Ssentamu ey'abanamateeka.[1][2] Mu kulonda kwa bonna okwa 2021, yalondebwa ng'oubaka wa Paalamenti akiikirira abakyala mu Disitulikiti ya Kampala okuva 2021 okutuuka mu 2026.[3]

Obuto bwe n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Malende yazaalibwa mu Kawempe mu Kampala ekibuga kya Uganda ekikulu mu Gwekumineebiri mu 1980,nga kitaawe ye Alhajj Jamal Ahmed Sebuta Malende, munamateeka, ne Jane Francis Nasunna, nga ye maama we omusomesa.

Yasomera ku Busaale Church of Uganda Primary School mu Disitulikiti y'e Kayuga.Yamaliriza S4 ku Buziga Islamic Theological Institute e Bbunga, mulirwaano gwa Munisipaali y'e Makindye, mu Kampala. Oluvannyuma yakyusibwa n'agenda ku Aisha Girls High School mu kibuga ky'e Mbarara mu buvanjuba bwa Uganda. Yamaliriza okusoma nga ye muyizi asinze mu bitundu Byobuvanjuba nga y'omu ku 10 mu ggwanga oluvannyua lw'okufuna obubonero AAAA mu bibuuzo bye ebya S6 mu 2000.[1]

Yagenda ku Yunivasite y'e Makerere, yunivasite y'abonna esinga obukadde n'obunene u Uganda, ng'awererwa gavumenti. Yatikirwa ne diguli mu byamateeka mu 2005. Yeeyongerayo n'okusoma dipulooma mu by'okwenyigira mu byamateeka, okuva kutendekero lya Law Development Centre mu Kampala. Baamutwala mu kibiina kya Uganda Bar imu 2008.[1][4]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Oluvannyuma lw'okutikirwa ku yunivasite, yakolera nga ku mulimu gwa taata nga tanaba kutandikawo kifo kye gyeyali akakalabiza emirimu gye egy'obwalooya, gyebayita Malende & Company Advocates.[2]

Wakati wa 2018 ne 2020, yaweebwa emisango egisoba mu 200 egy'abantu bamufuna mpola nadala abatuuze ba Uganda abali mu makomera olw'emisango egy'ekuusa ku byobufuzi. Abasinga ku beyali agenda okuwolereza baali baubibuga, nga bato era abaavu abatalina ssente, nebasaba okwegata ku kisinde kya People Power, Our Power Movementwamu n'ekibiina kyebyobufuzi ekya National Unity Platform. Yayitibwa okwegata ku ttiimu y'abanamateeka ey'ekisinde kya People,ekulemeberwa Asuman Basalirwa ne Benjamin Katana.[1][2]

Ebirubirirwa bye mu byobufuzi[kyusa | edit source]

Mu 2020, yakakasa nga bweyali agenda okwesimbawo ku ky'omubaka akiikirira abakyala mu kibuga kya Kampala mu 2021 mukulonda kw'ababaka ba Paalamenti ya Uganda.[1] Yali avuganya Stella Nyanzi eyali ayagala ekifo kyekimu, ng'ali ku tikiti y'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change. Malende yawangula ekifo kino.[5]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ebijuliriziddwamu[kyusa | edit source]

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]