Janani Luwum
Janani Jakaliya Luwum yali ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda okuva mu 1974 okutuuka mu 1977 era omu ku bakulembeze b’ekkanisa ey’omulembe guno mu Afrika. Yakwatibwa mu Gwokubbiri 1977 era nga wayiseewo akaseera katono n’afa. Wadde akawunti entongole eyogera ku kabenje k’emmotoka, okutwalira awamu kikkirizibwa nti yatemulwa ku biragiro bya Pulezidenti eyaliwo mu kiseera ekyo Idi Amin .
Okuva mu mwaka gwa 2015 Uganda ebeera nolunnaku olukulu nga 16 Ogwokkubiri, okujaguza obulamu bwa Janani Luwum. [1] [2]
Obulamu obwekitto
[kyusa | edit source]Luwum yazaalibwa ku kyalo Mucwini mu Disitulikiti y’e Kitgum mu bazadde abacholi . Yasomera mu Gulu High School ne Boroboro Teacher Training College, oluvannyuma n’asomesa mu pulayimale. Luwum yakyuka n’adda mu ddiini y’Ekikristaayo mu 1948, era mu 1949 n’agenda mu Buwalasi Theological College . [3]
Emirimu
[kyusa | edit source]Mu 1950 yagattibwa ku kkanisa ya St. Philip e Gulu . Yatuuzibwa ku bu dyankoni mu 1953, ate omwaka ogwaddako n’atuuzibwa ngomubuulizi. Yaweereza mu bulabirizi bwa Upper Nile mu Uganda n'oluvannyuma mu bulabirizi bw'e Mbale . Mu 1969 yatukuzibwa okuba Omulabirizi w’essaza ly’obukiikakkono bwa Uganda e Gulu. Oluvannyuma lw’emyaka etaano yalondebwa okuba Ssaabalabirizi w’essaza ly’e Metropolitan Province of Uganda, Rwanda, Burundi, ne Boga (e Zaire), n’afuuka Omufirika owookubiri okukwata ekifo kino. [4]
Okukwatibwa n’okufa
[kyusa | edit source]Ssaabalabirizi Luwum yali ddoboozi erikulembedde mu kuvumirira ebisusse mu gavumenti ya Idi Amin eyatuula ku ntebe yoobukulembeze mu 1971. [5] Mu 1977, Ssaabalabirizi Luwum yatuusa ekiwandiiko eky’okwekalakaasa eri nnakyemalira Idi Amin ng’awakanya enkola z’okutta abantu mu ngeri ey’ekimpatiira n’okubula kw'abantu mu ngeri etategeerekeka. [6] Nga wayise akaseera katono ssaabalabirizi n'abakulembeze b'ekkanisa abalala bavunaanibwa okulya mu nsi olukwe.
Nga 16 February 1977, Luwum yakwatibwa wamu ne baminisita ba kabineti babiri okuli Erinayo Wilson Oryema ne Charles Oboth Ofumbi . Olunaku lwe lumu Idi Amin yayita olukung’aana mu Kampala ng’abavunaanibwa abasatu weebali. "Abateeberezebwa" abalala abatonotono baalagibwa ne bagenda okusoma "confessions" ezikwata ku basajja bano abasatu. Ssaabalabirizi alumiriddwa okuba omutume w’eyali pulezidenti Milton Obote eyali mu buwanganguse, n’okuteekateeka okuwamba gavumenti. Enkeera Radio Uganda yalangirila nti abasatu bano bafudde mmotoka eyabadde ebatwala mu kifo we babuuzibwa ebibuuzo bwe yatomedde mmotoka endala. Akabenje kano, Radio Uganda bwe yategeezezza, kabadde kaguddewo ng’abagenzi bagezezzaako okulwanyisa omugoba w'emmotoka nga bagezaako okudduka. [7] Omulambo gwa Luwum bwe gwayimbulwa negukwasibwa abooluganda lwe, gwali gujjudde amasasi. Henry Kyemba, minisita w'ebyobulamu mu gavumenti ya Amin, oluvannyuma yawandiika mu kitabo kye A State of Blood, nti "Emirambo gyali gikubiddwa amasasi. Ssaabalabirizi yali akubiddwa amasasi mu kamwa n'amasasi agatakka wansi wa asatu mu kifuba. Baminisita baali bakubiddwa amasasi mu ngeri y'emu naye nga limu lyokka mu kifuba so si mu kamwa Oryema yalina ekiwundu ky'essasi mu kigere." [8]
Okusinziira ku bujulizi bw’abajulizi oluvannyuma, abaatibwa baali batwaliddwa mu bbaalakisi y’amagye, gye baatulugunyizibwa, ne batulugunyizibwa n’okukkakkana nga bakubiddwa amasasi. Time magazine yategeezezza nti "Amawulire agamu gaatuuka n'okukigamba nti Amin yennyini ye yasika emanduso, kyokka Amin n'obusungu n'awakanya omusango guno, era tewaaliwo bajulizi ba bwesigamwako". [9] Okusinziira ku mumyuka wa Pulezidenti wa Uganda Mustafa Adrisi [10] n’akakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu, mukwatangabo wa Amin ogwa ddyo Isaac Maliyamungu ye yakola ettemu lya Luwum ne banne. [11]
Omukululo
[kyusa | edit source]Janani Luwum alese nnamwandu, Mary Lawinyo Luwum n’abaana mwenda. Yaziikiddwa ku kyalo kye Mucwini mu Disitulikiti y'e Kitgum . [12] Ssaabalabirizi Luwum amanyiddwa ng’omujulizi eri ekibiina kya Anglican Communion era ekibumbe kye kiri mu bajulizi b’omu kyasa eky’amakumi abiri ku maaso g’ekigo kya Westminster Abbey mu kibuga London. [13] Aweebwa ekitiibwa ku kalenda z’okusinza ez’ekkanisa ya Anglican Church of Australia, Anglican Church of Canada, Scottish Episcopal Church, ne Church in Wales nga 3 Ogwomukaaga. [14] Aweebwa ekitiibwa ku kalenda z’okusinza mu kkanisa ya Anglican Church in Aotearoa, New Zealand ne Polynesia, Episcopal Anglican Church of Brazil, Church of England ne Episcopal Church of the United States nga 17 Ogwokubiri. [15]
Olunaku lwa Ssaabalabirizi Janani Luwum
[kyusa | edit source]Olunaku lwa Ssaabalabirizi Janani Luwum lunnaku lukulu mu Uganda, olukuzibwa nga 16 Ogwokubiri buli mwaka. Ennaku enkulu zino ziweebwayo eri obulamu n'obuweereza bwa Janani Luwum eyali ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda, nga kitwalibwa nti yattibwa ku biragiro by'omukulembeze w'eggwanga mu kiseera ekyo Idi Amin . [16]
Laba nabino
[kyusa | edit source]
- Omulabirizi wa Uganda
- Namirembe
Ebijiliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1417242/uganda-declared-february-archbishop-janani-luwum-public-holiday
- ↑ https://www.officeholidays.com/holidays/uganda/archbishop-janani-luwum-day
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/remembering-the-life-of-martyr-janani-luwum-1686636
- ↑ "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2008-05-16. Retrieved 2024-09-03.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://observer.ug/viewpoint/68482-archbishop-luwum-death-why-such-history-keeps-visiting-us
- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/leaders-silent-about-torture-at-archbishop-janani-luwum-commemoration
- ↑ https://web.archive.org/web/20070930070653/http://www.time.com/time/magazine/article/0,9171,918720,00.html
- ↑ A state of blood: The inside story of Idi Amin (1977) Henry Kyemba
- ↑ https://web.archive.org/web/20070930102158/http://www.time.com/time/printout/0,8816,918762,00.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1340661/mustafa-adrisi-life-exile
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1320718/luwum-murder-witnesses
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/i-am-glad-the-day-my-husband-was-killed-is-public-holiday-mary-luwum-1640550
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/archbishop-janani-luwum-a-martyr-of-hope-and-healing-3292888
- ↑ https://www.scotland.anglican.org/wp-content/uploads/Calendar-and-Lectionary-2023-Complete.pdf
- ↑ https://www.episcopalchurch.org/lectionary/janani-luwum/
- ↑ https://publicholidays.africa/uganda/archbishop-janani-luwum-day/