Zahara Nakiyaga
| Ekikula | mukyala |
|---|---|
| Yazaalibwa nga | 1992 |
| Gy'azaalwa | Yuganda |
| Omulimu | beauty pageant contestant |
| Ebbanga ly'akoledde (okutandika) | 2015 |
| Significant event | beauty pageant winner |
Zahara Nakiyaga (era amanyikiddwa nga Zahara Muhammad Nakiyaga) Munnayuganda nnalulungi, ey'ebuuzibwako ku by'okwewunda eyawangula engule y'obwannalulungi wa Uganda mu 2015.[1] Yakiikirira Uganda mu mpaka z'obwannalulungi ku mutendera gw'ensi yonna eza Miss World 2015 ezategekebwa mu Sanya, China. Obuwanguzi bwe bwamuweesa ekifo ky'omukulembeze w'abavubuka n'enkulakulana.[1]
Obuto bwe n'obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Nakiyaga yazaalbwa mu Disitulikiti y'e Wakiso mu Uganda eri Hajjati Mariam Nabwire ne Hajji Muhammed Kiyaga mu Masekkati ga Uganda mu 1992.[2] Yasomera mu masomero g'omu kitundu mu pulayimale ne siniya nga tannawandiisibwa ku Ssettendekero wa Makerere gye yasomera diguli mu by'enkulakulana eya Degree in Development Studies. Bwe yali avuganya ku ngule ya Nnalulungi wa Uganda eya Miss Uganda nu 2015, yali amaliriza omwaka ogusembayo ogw'okusoma ku Yunivasitte.[3] Oluvannyuma mu 2015, yatikibwa okuva mu somero lyokuzanya katemba ne firimu erya (School of Liberal and Performing Arts) ku Ssettendekero wa Makerere, ne diguli mu by'enkulakulana eya Bachelor of Development Studies.[4]
Empaka za Miss Uganda 2015
[kyusa | kolera mu edit source]Nga nalulungi wa Uganda, Nakiyaga yakiikirira ensi ye mu mpaka z'obwanalulungi munsi yonna ezaategekebwa mu Sanya, China, mu Gwekumineebbiri 2015. Yatikirwa engule y'obwannalulungi eya Miss Uganda 2015/2016 nga 10 Ogwomusanvu 2015 ku Kampala Serena Hotel. Yamegga ba nnalulungi abalala amakumi abiri bwe yewunyisa abalamuzi mu kanyomero k'okwanukula ebibuuzo. Juliana Nabwowe yakwata kyakubiri ate ye Engrid Ritah Wanyama yamalira mu kyakusatu.[5][6]
Empaka z'obwannalulungi ku mutendera gw'ensi yonna 2015
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvannyuma lw'obuwanguzi bwe, Nakiyaga yakiikirira Uganda mu mpaka z'obwannalulungi ez'okumutendera gw'ensi yonna eza 65th Miss World ezategekebwa mu, Sanya China mu Gwekkumineebiri 2015. Ng'ayita mu mpaka zino, yatumbula eby'obulambuzi bya Uganda, obuwangwa n'ennono saako n'okulwanirira enkulakulana mu bavubuka wakati mu kuvuganya n'amawanga agasoba mu 100.[7][5]
Emirimu emirala gye yakola
[kyusa | kolera mu edit source]Mu mpaka za Miss Uganda, abavuganya baayita mu kutendekebwa kw'eby'obulimi n'obulunzi okwategekebwa aba Uganda Biosciences Information Center (UBIC). Nakiyaga yatunulirwa bangi olw'okuddamu obulungi ekibuuzo ekikwata ku bintu ebikolerere (GMOs) mu mpaka ez'akamalirizo mu 2015. Oluvanyuma lw'obuwanguzi bwe, yafuuka omulwanirizi era omukubiriza w'abavubuka okw'enyigira mu by'obulimi n'enkulakulana y'ebitundu byaabwe.[8]
Ku mulembe gwe, yetaba mu mirimu egy'enjawulo ng'okutumbula eby'enjigiriza, obukulembeze mu bakyala n'okukuuma obuwangwa n'ennono za Uganda.[9]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Ng'ogyeko empaka z'obwannalulungi, Nakiyaga yakolako ng'eyebuuzibwako ku nsonga z'obulungi n'endabika ng'era mu kaseera kekamu awagira enteekateeka z'okuyimusa abavubuka n'okukulakulanya ebintu byabwe. Obuyigirize bwe mu kisaawe ky'ebyenkulakulana kikoze kinene mu kutambuza enteekateeka ze eri abavubuka n'ebitundu mwe bawangalira.[7]
Ebimukwatako eby'omunda
[kyusa | kolera mu edit source]Nakiyaga ayogera ennimi ez'enjawulo omuli Olungereza, Oluganda, n'Olusoga. Ajuliza Nelson Mandela ng'omu ku bakulembeze be yegomba olw'okwewaayo eri obukulembeze. Anyumirwa nnyo okutambula, omupiira, amazina n'okusisinkana abantu abapya.[7]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijulizidwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 Oluka, Esther (11 July 2015). "23-year-old Zahara crowned Miss Uganda". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 10 September 2018.
- ↑ Adesola Ade-Unuigbe (24 November 2015). "BN Beauty presents the African Queens at Miss World 2015". BellaNaija.com. Retrieved 10 September 2018.
- ↑ Eupal, Felix (13 July 2015). "Nakiyaga is Miss Uganda 2015". The Observer (Uganda). Kampala. Archived from the original on 10 September 2018. Retrieved 10 September 2018.
- ↑ .
- 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/23-year-old-zahara-crowned-miss-uganda-1617728
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2026-06-30. Retrieved 2026-06-30.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - 1 2 3 https://www.missworld.com/contestants/2015/uganda-2015
- ↑ https://www.isaaa.org/kc/cropbiotechupdate/article/default.asp?ID=13630
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/meet-the-reigning-miss-uganda-1618358