Jump to content

Lilian Aber

Bisangiddwa ku Wikipedia

Lillian Aber ye mubaka Omukyala mu Disitulikiti y'e Kitgum mu Palamenti ya Uganda eya 11 .

Ye minisita omubeezi mu ofiisi ya Ssaabaminista ow'ebigwa bitalaze [1]Yalondebwa ku bendera y'ekibiina kya National Resistance Movement ku mulembe gwa Pulezidenti wa Uganda, Yoweri Museveni. Mu kulonda kwa bonna okwa 2021, Aber yawangula n’obululu 41,192 ng’avuganya ne Roselyn Alanyo Olobo owa Uganda People’s Congress ne Norah Odokorach, eyeesimbawo nga talina kibiina.

Okusoma

[kyusa | edit source]

Aber yafuna diguli esooka mu Lulimi Olungereza n'obukugu mu mpuliziganya okuva mu yunivasite ye Makerere . Era yafuna diguli ey'okubiri mu by’amafuta ne ggaasi okuva mu Uganda Christian University ne diguli endala ey'okubiri mu by’okuddukanya emirimu gya mu okuva yunivasite y’e Makerere. Aber era alina diguli ey'okusatu ey’ekitiibwa okuva mu ttendekero lya Zoe Life theoretical college mu Amerika.

Lillian Aber 2.jpg

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Aber okwenyigira mu byobufuzi yakutandikira ku yunivasite y’e Makerere. Ng’akyali mu mwaka gwe ogusooka, yawangula akalulu k’okufuuka Guild Representative Councilor (GRC) w’essomero ly’ebyemikono mu College of Humanities and Social Sciences. Oluvannyuma yalondebwa nga Minisita wa Guild Pulezidenti wa Guild, Anna Ebaju Adeke omwaka ogwo. Ng’asoma mu mwaka ogwokubiri, yayimiriddewo ku bwapulezidenti bwa guild ku tikiti y’ekibiina kya Forum For Democratic Change, kyokka n’akubwa Bwowe Ivan, oluvannyuma eyamulonda ng’omumyuka wa Pulezidenti wa Guild.

Ng’amyuka akulira abayizi ku yunivaasite, yakola okuvuganya ku bwa Pulezidenti bw’ekibiina ekigatta abayizi ekya Uganda National Students Union (UNSA) kye yawangula mu 2015, n’adda mu bigere bya Matanda Abubaker (eyali Pulezidenti wa UNSA okuva mu 2013 okutuuka mu 2014). Oluvannyuma Aber yava mu kibiina kya Forum For Democratic Change n'adda mu kibiina kya National Resistance Movement bwe yali yesimbye ku kifo ky'obwa Ssentebe w'olukiiko lw'abavubuka mu ggwanga . Yalondebwa ku kifo kino mu November 2015, n’afuna obululu 119 okusinga George Abudul eyafuna obululu 105.

Aber muwabuzi wa pulezidenti ku nsonga z'abavubuka era omubaka w’abavubuka mu kibiina ky’amawanga amagatte . Aber era eyaliko omukiise w’ekibiina ky’abayizi ekya Commonwealth. Mu 2018, Aber yeegatta ku ttiimu ya Uganda eyeekenneenya ssemateeka . [1] Mu 2016 yali yeesimbawo ku lukiiko lwa East African Legislative Assembly (EALA).

Mu January 2021, Aber yawangula ekifo Omubaka Omukyala owa disitulikiti eye Kitgum. Yadda mu bigere bya Margaret Lamwaka Odwar eyadda mu konsitytyuwensi eya Chua East.

Ye mutandisi era dayirekita w’ekibiina kya Laber Foundation ekibiinaky'obwannakyewa ekisangibwa mu Kitgum.

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | edit source]
  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :2