Jump to content

Nabilah Naggayi Sempala

Bisangiddwa ku Wikipedia

Nabilah Naggayi Sempala munnabyabufuzi mu Uganda. Mu kiseera kino y'akiikirira abakyala b'ekibuga Kamapala mu paalamenti ya Uganda eyekkumi okuva mu mwaka gwa (2016 okutuuka mu 2021).

Obuvo n'okusoma

[kyusa | edit source]

Nabilah Naggayi yazaalibwa mu Uganda mu Gwokuna gwa 1972. yasomera ku ssomero lya Kibuli Demonstration School ng'eno gye yasomera emisomo gye gyonna egya pulayimale bwe yali nga tannagenda ku ssomero lya Kibuli Secondary School okusoma siniya eyookuna. Oluvannyuma yamaliriz okusoma kwa siniya eyoomukaaga ku ssomero lya Mengo Senior School, olwo n'afuna dipulooma y'okumaliriza okusoma siniya eyoomukaaga mu mwaka gwa 1992.

Mu 1994, Naggayi eyalina dipuloma ku kuvvuunula okuva mu ssettendekero ya Saarland University, mu Saarbrücken, Germany. Mu mwaka gwa 1996, yaddayo okusoma diguli ya Atisi (Bachelor of Arts) okuva ku ssettendekero ya Makerere University, ssettendekero ya gavumenti esinga obukadde n'obunene mu Uganda. Yaddayo okusoma era n'afuna diguli eyookubiri mu mbeera z'abakozi okuva ku ssettendekero ya Her degree of Master of Arts in Public Administration, was awarded by Makerere University in 2011.[1]

Emirimu

[kyusa | edit source]

Naggayi yatandika olugendo lwe ol'ebyobufuzi nga kkansala akiikia ku distulikiti y'e Wakiso ( Wakiso District Local Government) mu mwaka gwa 2001, era nga yabeera mu kifo kino okutuuka mu mwaka gwa 2005. Ye ng'ali ne banne okwali Muhammad Nsereko, nga mu kiseera kino y'akiikirira ekitundu kya Kampala y'amassekkati mu paalamenti ya Uganda, baatandikawo ekibiina ky'ebyobufuzi ekya Social Democratic Party (SDP). Yeetaba nnyo mu kakuyege w'akalulu k'ekikugo ak'okuzzaawo enfuga y'ebibiina by'ebyobufuzi ebingi mu mwaka gwa 2005. Yali talna kibiina kya byabufuzi kyonna okutuusa mu mwaka gwa 2006 lwe yeegatta ku kibiina ky'ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change (FDC) era n'avuganyiza ku kaadi y'ekibiina kino mu kulonda wka bonna okw'omwaka 2006.[2]

Mu mwaka gwa 2006, ku myaka asatu mu etaano (35), yalivvula Margaret Nantongo Zziwa ow'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM), okusobola okufuna ky'omubaka omukyala owa Kampala mu paalamenti ya Uganda eyoomunaana mu kisanja kya (2006 okutuusa 2011).[3]

Mu kulonda kw'ababaka ba paalamneti okwa 2011, yafuna obululu obukadde bubiri obukadde bubiri mu emitwalo abiri mu enkumi bbiri mu lusanvu mu abairi mu buna (222,724) bw'ogeraageranya ku bululu emitwalo ekkumi n'omukaaga mu enkumi nnya mu bisatu mu nsanvu mu munaana (164,378) obw'eyamuli ku mbiranye, Margaret Zziwa ow'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) bwe yafuna. Mu kulonda kwa 2013, akabinja ka bannamateeka kaamukuba mu mbuga z'amateeka, okwali; ssaabawolereza wa Uganda, akakiiko k'ebyokulonda, ku nsonga ey'ekikugu kubanga gavumenti eya wakati yali emaze okweddiza enzirukanya y'ekibuga Kampala okuva nga 28 Ntenvu 2010, era ekibuga ne kibeera nga tekikyatwalibwa kubeera nga disitulikiti.[4]

Mu mwaka gwa 2016 Naggayi yavuganyizibwa abantu bataano ku kifo kino, omwali n'eyali minisita w'ensonga z'abavubuka n'ensonga z'abaana, Florence Nakiwala Kiyingi. Wabula bano bonna Naggayi yabawangulira ddala.[5] Mu kukubaganya ebirowoozo okwali mu paalamenti okw'okuggya ekkomo ku myaka omuntu kw'alina okwesimbirawo ku bukulembeze bw'eggwanga nga bakola ennongoosereza mu ssemateeka w'eggwanga, Naggayi yali omu ku babaka b'oludda oluvuganya abaggyibwa abeebyokwerinda mu paalamenti ku kifuba, nga 27 Ogwomwenda 2017, wadde nga yali tali ku lukalala lw'abo abaali bawereddwa omukubiriza w'olukiiko lw'eggwanga olukulu okuva mu paalamenti.[6]

Yeesimbawo ku kifo ky'obwaloodimmeeya mu kalulu ka 2021-2026 era n'awangulwa [7]

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. http://allafrica.com/stories/200701020196.html
  2. http://allafrica.com/stories/200701020196.html
  3. Andrew Ndawula (30 December 2006). "Uganda: Our Politicians – Nabilah Naggayi Sempala" (via AllAfrica.com). New Vision. Kampala. Retrieved 4 November 2016.
  4. http://allafrica.com/stories/200701020196.html
  5. Paul Tajuba, and Joseph Kiggundu (20 February 2016). "Winners And Losers in Kampala, Wakiso MP Races". Daily Monitor. Kampala. Archived from the original on 3 May 2019. Retrieved 4 November 2016.
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2019-05-03. Retrieved 2022-12-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. http://nilepost.co.ug/2021/05/26/erias-lukwago-sworn-in-as-kampala-lord-mayor-for-third-term/