Namba za Kibazo(cardinal numbers)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Charles Muwanga Ennamba za Kibazo

Namba ya Kibazo (Cardinal number) era ye namba ebala (counting number) , ebala obungi (quantity) era ye namba eraga ebintu bimeka ebiri awo oba ebiri omwo. Eky’okulabirako ekugamba nti kimu, bibiri, bisatu, bina, bitaano, kuminakimu, kikumi ,kimumimwabiri, n'okweyongerayo.

Mu kubala, tuyinza okukozesa namba 1, 2, 3, 4, 5, 6, 7, 8, 9 ,10, 11, 12,… nokweyongerayo. Abantu babadde bakozesa namba okubala enkumi n’enkumi z’emyaka egiyise era okubala kintu kya buttonde. Omuntu ayinza okwogera ku byalina ng’agamba nti alina abaana kumi na bataano, n’eddundiro eririko embuzi abiri mu nnya, abakyaala munaana, n’okweyongerayo. Namba za kibazo (namba ezibala) ze namba ezikozesebwa okubala ng’ezo waggulu: era namba zino zibadde zikozesebwa abantu ova emabega emyaka nkumu.

Namba ya kibazo n’olwekyo ekugamba “emirundi emeka” kyokka era zino ziyitibwa “namba za ndagabungi” (quantitative numbers,) kubanga ziraga obungi oba omuwendo. Omuntu bw’aba alaga ebintu by’agenda okugula mu katale akozesa namba za ndagabungi bw’ati”:

 Enkoko 5

 Amatooke 10

 Kiro z’omukyeere 3

 Kiro za sukaali 6

 Embuzi 1

N’omusomesa nga ayigiriza omwana okubala akozesa namba za kibazo bw’ati:

zeero 0 emu 1 bbiri 2 ssatu 3 , n’okweyongerayo

Namba ya kibazo teba ya “mukutulo/mutunduwazo (fraction) yadde “omutonnyeze/omukumito” (decimal). Eba namba nzijuvu (whole number).