Omugendo (Ray)
Emigendo (Rays)
Omugendo (a ray ) luba lukoloboze olugolokofu olutandikira ku katonnyeze ak'enkomerero ku ludda olumu olwo ne lweyongerayo mu entakoma ku luuyi olulala .
Omugendo guba “n’akatonnyeze k’ekomerero” (endpoint) kamu kokka nga kano ke kalaga ekifo we gutandikira.
Mu sayansi n’ekibalangulo ekigambo “omugendo” kikozesebwa okujjayo emiramwa egy’enjawulo . Waliwo :
Omugendo gw’ekitangaala (a ray of light)
Omugendo gw’amasoboza (movement of energy)
Omugendo gw’empalirizo y’amasanyalaze ne maggineeti (movement of electromagnetic force )
Omugendo gwa’empalirizo ya erakitomagineeti( movement of electromagnetic force)
Omugendo gw’amasannyalaze (movement of electricity, current)
Omugendo gw'obusannyalazo(the flow of electrons).
Omugendo gw'obusannyalazo (Movement or flow of electrons)
Jjukira nti amasannyalaze gannyonnyolwa nga “omugendo gw'obusannyalazo”(flow or movement of electrons). Buli mugendo guba n’obutandikiro oba ensibuko. Eky’okulabirako gwe mugendo gw’ekitangaala.N'olugendo gwefaananyirizaamu omugendo.Omugendo gw'ekitangaala okuva ku njuba oba okuva ku ttaala yonna luba lugendo lwa kitangaala.
Bya Charles Muwanga.